TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Yeewuunya abaagala okulemesa Katikkiro Mayiga okuzimba Amasiro!

Yeewuunya abaagala okulemesa Katikkiro Mayiga okuzimba Amasiro!

Added 2nd November 2013

ATE b’ani abo abaagala okulemesa Katikkiro Mayiga omulimu omukulu ennyo gw’aliko ogw’okuzimba n’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi?



ATE b’ani abo abaagala okulemesa Katikkiro Mayiga omulimu omukulu ennyo gw’aliko ogw’okuzimba n’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi?

Mayiga yeerayiridde omulimu gw’Amasiro g’e Kasubi okugumaliriza nga March w’omwaka ogujja nga tannayita. Kale awo wabi ki?

Mpozzi awo wabi eri oyo eyayokya Amasiro ago n’akaabya Abaganda amaziga aga jjulujjulu. Naye eri abo bonna abeenyumiriza mu kitiibwa kya Buganda era abalyagadde kiddewo nga bwe kyali, omulimu Mayiga gw’aliko gwa ttendo era tasaana kutaataaganyizibwa.

Mayiga obwakatikkiro abulidde aviira ddala mu mbuga ya Kabaka, era bwatyo amanyi bulungi ebyo ebyazimba ekitiibwa kya Buganda nga bwe byakolebwanga.

Byakolebwanga mu ntuuyo n’okutegana. Olwaleero twenyumiriza nnyo mu bintu ng’ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba, oba mu kizimbe ky’ekkanisa y’e Namirembe, naye bakabaka Mwanga ne Daudi Chwa baayitanga mu bakatikkiro baabwe ne bakunga Obuganda okutuuyana n’okutegana okukola era n’okuyimirizaawo ebintu ebyo eby’ekitiibwa.

Newankubadde mu biseera ebimu Amasiro g’e Kasubi gaazimbibwa n’ensimbi z’omusolo, kyokka emirimu mingi ku go gyakolebwanga mu bwannakyewa mu Bulungibwansi.

Bwatyo Mayiga bw’atalaaga Obuganda ng’akung’aanya ensimbi ez’okuzimba Amasiro, asaana nnyo okuwagirwa, buli alina k’alina akamuwe, naddala nga bwe kimanyiddwa nti Mmengo tekyalina nsimbi za misolo.

Ekiriwo kya ‘Nkoba za Mbogo” na kwekaamwana ffekka. Mmengo okukola emirimu nga teyeetemye kiseera kya kugimaliramu, Mayiga akidibizza ng’agamba nti oluusi kizaala n’obugayaavu.

Okwogera atyo, aba ayogera kirabika ng’owejjanga abika, naddala bw’otunula ku kizimbe kya “Bulange Plaza” ekiriraanye ekya Bulange, Idi Amin Dada kye yali azimba, ekimaze emyaka n’ebisiibo nga tekiggwanga.

Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku! Okimanyi nti n’okutunula ku lipoota erimu ebyazuulwa mu kubuuliriza ku abo abaayokya Amasiro, ekyo nakyo kiba kuzibuwaliza Katikkiro Mayiga omulimu gw’aliko ogw’okugazzaawo?

Nedda bagundi mukimanye nti obutayatuukiriza abo abaayokya Amasiro kya ttima ery’ejjingirizi. Ate ab’ettima ery’ejjingirizi oluusi Mungu abakuba ebbalaayi mu buwompo.

Sikulimba!

Yeewuunya abaagala okulemesa Katikkiro Mayiga okuzimba Amasiro!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...