TOP
  • Home
  • Mzee Zedde
  • Mzee Zedde: Yeewuunya abakazi abagaana okukebeza abaana baabwe okukakasa oba nga ba kika ekyo

Mzee Zedde: Yeewuunya abakazi abagaana okukebeza abaana baabwe okukakasa oba nga ba kika ekyo

Added 6th October 2018

ABANGE ani yatandiikiriza omuze gw’okukebeza abaana mu byuma okukakasa nti ddala ba mu maka omwo?

 Omugenzi Kawuma

Omugenzi Kawuma

Bannange ono nnabe yennyini azze okusenkenya amaka anti obuteesigahhana butandikira wano.

Ggwe tegereza ssemaka w’aggya ekirowoozo okukebeza abaana be akakase oba ddala y’abazaala!

Kino nno kiba kikulu era bino bwe bituuka mu maka obufumbo buba ku ttengerere kuba omusajja okukebeza abaana wamala kubaawo bigwawo ebimuleetera okwekengera.

Naye abange ate kambuuze, olwo ggwe nnakyala lwaki weenyigira mu bikolwa ebikuleetera munno okukubuusabuusa n’atuuka n’okutwala ezzadde lyammwe mu kyuma alikebere si kulwa ng’ayola ogutali musaayi gwe?

Ekirungi edda buli mwana eyabeeranga mu maka yalinga wa mu nju naye kati abantu baaluno bakaze amaaso ne bakamala bwe beefudde k’ezaala k’ekomberera, tebakyayagalira ddala kusaasaanya nsimbi ku baana be batazaala.

Naye erudda bayinza okuba abatuufu, omwana gw’otozaala kyetaaga n’omusaasaanyizaako ensimbi ng’okimanyidde ddala nti omuyamba buyambi naye si mu ngeri yakumukusiba ng’ekituufu omukazi akimanyi nti omwana si muzaale wa mu maka.

Edda waabangawo enkola ey’okukebera abaana mu buwangwa nga mu Buganda ng’abaana bakeberebwa mu mukolo ogw’okubaalula.

Omukolo guno gwateekanga nnyo abakazi ku bunkenke kubanga akalira k’omwana we bwe kaateekebwanga mu kibbo omuli amazzi ne katadda ku ngulu ng’oyo omwana si wa mu kika ekyo.

Era wano obudde we bwaddiranga ku bunnaabwo olwo omukazi ng’atandika kunoonya gy’atwala mwana anti kyabanga kimaze okweraga nti yabaligira mu bufumbo era oyo omwana mu kiseera ekyo yatandikirangawo okuboolebwa mu famire.

Enkola y’okwalula abaana yawalirizanga abakazi okwekuuma mu bufumbo ne batatambula naddala nga bakyazaala kuba baakimanyanga nti omukolo gw’okwalula abaana bwe gunaatuuka akalira k’omwana ne katadda ku ngulu ng’obudde bumukeeredde.

Naye kirabika abakazi b’ennaku zino tebakyalina kibakanga abasajja kye bavudde basalawo okukozesanga ebyuma okukakasa abaana.

Naye era mwattu n’enkola eno erimu obuzibu kubanga waliwo ebyuma ebiwa ebivudde mu musaayi eby’ekicupuli, ekyuma ne kigaba omwana awakyamu!

Nnasomye mu mawulire nga kitaawe w’eyali ddereeva wa Bobi Wine, eyattirwa mu Arua, akebezza bazzukulu be bonna okukakasiza ddala abaana ba mutabani we alabirire omusaayi gwe yeesiga.

Musajja mukulu ono yabadde mutuufu kubanga sipiidi abakazi gye baabadde baleeterako abaana, yabadde esusse.

Kigambibwa nti waliwo abakyala abaatidde eby’omusaayi ne beecwacwana nti si ka ssente abaana baabwe bajja kubeerabiririra okusinga okubatwala mu kyuma okubakebera.

Naye abange ggwe atalina kye weekengera, ekyuma okityako ki? Abaganda bagamba nti akatali kabbe amagumba osuula mu luggya.

oolwekyo ebyuma biyinza okuyambako okulwanyisa obutali bwesigwa mu mak

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.