TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mzee Zedde: Yeewuunya abalonzi abakubagana olwa bannabyabufuzi abakyuka ng'obudde!

Mzee Zedde: Yeewuunya abalonzi abakubagana olwa bannabyabufuzi abakyuka ng'obudde!

Added 20th July 2020

MUNNABYABUFUZI kkoyi! Bw’akugamba okumulindira e Bugerere, olina kumuteega Butambala. Eyabadde owa kiragala ku makya, omusanga ali mu kyenvu akawungeezi.

Ababaka ba NRM ababadde bawakanya enkola y'ekibiina nga basisinkanye Museveni , ssentebe wa NRM

Ababaka ba NRM ababadde bawakanya enkola y'ekibiina nga basisinkanye Museveni , ssentebe wa NRM





Eyabadde atenda obulungi bwa Federo ku Mmande, omusanga ku Lwokutaano nga y'akulembedde abagivumirira era nga y'akutte omumuli gw'abawaana gavumenti ey'ekipooli.

Abalonzi abaakubaganidde ebikonde ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi be basiikudde Mzee Zedde n'atuuka okwennyamira awatali abudaabuda.

Abamu obwedda bawuuba ebikonde nga bwe bagamba nti, "Omuloodi waali" ate abalala nga bwe bawuuba tteke nga bwe bagamba nti: Tuleese Nabilah Naggayi, ekiba kibe.

Oludda olumu lwabaddeko abawagizi ba Erias Lukwago ate oludda olulala nga lwe luliko abawagizi ba Nabilah abaabadde bamuwerekeddeko okwewandiisa okukwatira FDC bendera ku kifo kya Loodi Mmeeya, wabula abaddukanya ekitebe ne bagaana nga bagamba nti ennaku z'okwewandiisa zaabadde ziweddeko.

Abaakubaganidde e Najjanankumbi, baba kuba nga baasoose kukirowoozaako nti okusala eddiiro, kazannyo ka bannabyabufuzi, osanga ekikonde ekyanyoose tekyandinyoose.

Okuva mu gy'enkaaga ng'ababaka ba KY basala eddiiro, n'aba DP abaakulemberwa Bataringaya beegatta ku UPC, okusala eddiiro gwafuuka musono abamu mwe bafunira Obwaminisita n'ebitiibwa ebirala.

Be baakuba emiggo nga beekalakaasa olwa Seya, katono bagwewo ekigwo ng'atandise okuteetera ne NRM era okukkakkana nga Pulezidenti Museveni amuwadde obwaminisita era Palamenti yabumusuuza busuuza. Yawunzika afuuse muwi w'amagezi owa Pulezidenti ku nsonga za bayinvesita.

Abaafiirwa abantu baabwe e Bwaise bwe baasabalwa ekimotoka nga bali mu kuyisa ebivvulu bya Sseya, ne gye buli eno bakyevuma engeri gye beewaayo ennyo okutuuka awo, kyokka gwe baali basuuta n'abaleka mu buyinike n'akutula ddiiru z'ebifo.

Baba kumanya nti gwe bafiirira busobola okutuuka enkeera ng'asaze eddiiro, tebandikkirizza kufa kifamukokko batyo.

Abaafunira ebizibu mu kalulu ka 2006 nga mu kuyingira FDC baasikirizibwa Beti Kamya, baba kumanya nti oluvannyuma lw'emyaka 15 ajja kuba awaana NRM era ng'afuuse minisita mu gavumenti gye yali avumirira, osanga nabo bandisse ku bigere.

Ennaku ya Zedde w'eva okumusukkako atuuke ettaka okulizizika enkondo, kwe kuba ng'abalonzi bakyalemeddwa okumanya nti bannabyabufuzi bangi si beesimbu, tebalina mugongo era bukya ku makya ng'omuyaga gubafuuye gubatwala Ntebe ate nga basangiddwa badda Jinja.

Muve mu ntalo z'ebyobufuzi kubanga be muzirwanira tebasaze ddiiro mweyano! Muwagire abantu bammwe mu ddembe, mulinde ekiseera ky'akalulu kituuke mukakube mulinde ebivaamu.

Okulwanagana ne mutuuka n'okwewangulamu amannyo, mujja kusigala nga babayita "Mapengu", "Malibuttole" naye nga be mwali mulwanirira boogera Ludica lwennyini. Ebyo byebyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Omusajja alinnye omuti gw'a...

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye...

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo adduse mu ggw...

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta. Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu...

Bannaddiini mu kuziika omugenzi Kibuuka Musoke.

Amagye ga Gavumenti ya Ethi...

ADDIS ABABA, Ethiopia ABANTU 750 ababadde beekwese mu Klezia bazingiddwaako amagye ne battibwa kirindi. Abamu...

Amaka Maj. Zizinga  (mu katono ku kkono) w’abadde abeera.

Ekiraamo kya Zizinga kiwuun...

EKIRAAMO kya Maj. Kulovinsa Oliver Nakimbugwe Zizinga 85, kyasomeddwa mu Lutikko e Namirembe, abakungubazi ne bawuniikirira....

Hajji Jamir Ssebalu.

'Abakozi mufeeyo ku mirimu ...

Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza...