TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Agugulana ne KCCA atiisizza okuyiwa famire ye mu luguudo beekalakaase

Agugulana ne KCCA atiisizza okuyiwa famire ye mu luguudo beekalakaase

Added 2nd June 2020

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza nga yeekalakaasa olw'ejjoogo ly'abakungu ba KCCA lye boolesezza okugenda mu maaso n'okukola oluguudo nga luyitira ddala mu musingi gw'amayumba get okuli ne kalina kyokka nga tewali kukaanya kw'ali a nabo.

HAJJI  Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule  muluguudo ompi n'amayumbage e Lweza nga yeekalakaasa olw'ejjoogo ly'abakungu ba KCCA lye boolesezza okugenda  mu maaso n'okukola oluguudo nga luyitira ddala mu musingi gw'amayumba ge okuli ne kalina kyokka nga tewali kukkaanya kwa nkomeredde.Hajji Musisi azze yeemulugunya olw'ekitongole kino okumudyekadyeka nga bakola oluguudo Kabuusu- Bunnamwaya- Lweza road  nga bagamba nti tewali kintu kya muntu yenna kye bagenda kukosa wabula ne kyokka beekyusa ne boonoona ebintu bye n'okuyisizza ddala oluguudo mu musingi gw'amayumba ge ekigaleetedde okujjamu enjatika.

Hajji Ssenyonjo agamba nti oluvannyuma lw'okwekubira enduulu mu mawulire, aba KCCA bajja ne bamutegeeza nga bwe bajja okuteesa naye ye ky'agamba nti baali bagula budde bakole oluguudo balumale olwo ye asigale mu bbanga.Bwe yabalemerako ennyo baamutegeeza nga bwe bajja okusasula akayumba akatono naye kalina tebajja kugisasula kyokka nga nayo zi weetiiye eziwalakata zaagiyita mu musingi ye ky'alumiriza nti kino bandiba nga baakikola lwakuba nga balaba kalina erina kusasulwa ssente nnyingiko.

Omwogezi wa KCCA Peter Kawujju ku lukomo lw'essimu yatutegeezezza nti ensonga ezo yali tazimanyiiko wabula n'asuubiza okwogera n'omusasi waffe ku Mmande ng'amaze okusoma ebiri mu fayiro ye.Era olwamukubidde ku ssaawa ze yatutegeezezza, yatusabye tumuweemu eddakiika 30 wabula olwazzeemu ookumukubira essimu, teyazaanukudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...