HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule muluguudo ompi n'amayumbage e Lweza nga yeekalakaasa olw'ejjoogo ly'abakungu ba KCCA lye boolesezza okugenda mu maaso n'okukola oluguudo nga luyitira ddala mu musingi gw'amayumba ge okuli ne kalina kyokka nga tewali kukkaanya kwa nkomeredde.Hajji Musisi azze yeemulugunya olw'ekitongole kino okumudyekadyeka nga bakola oluguudo Kabuusu- Bunnamwaya- Lweza road nga bagamba nti tewali kintu kya muntu yenna kye bagenda kukosa wabula ne kyokka beekyusa ne boonoona ebintu bye n'okuyisizza ddala oluguudo mu musingi gw'amayumba ge ekigaleetedde okujjamu enjatika.
Hajji Ssenyonjo agamba nti oluvannyuma lw'okwekubira enduulu mu mawulire, aba KCCA bajja ne bamutegeeza nga bwe bajja okuteesa naye ye ky'agamba nti baali bagula budde bakole oluguudo balumale olwo ye asigale mu bbanga.Bwe yabalemerako ennyo baamutegeeza nga bwe bajja okusasula akayumba akatono naye kalina tebajja kugisasula kyokka nga nayo zi weetiiye eziwalakata zaagiyita mu musingi ye ky'alumiriza nti kino bandiba nga baakikola lwakuba nga balaba kalina erina kusasulwa ssente nnyingiko.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawujju ku lukomo lw'essimu yatutegeezezza nti ensonga ezo yali tazimanyiiko wabula n'asuubiza okwogera n'omusasi waffe ku Mmande ng'amaze okusoma ebiri mu fayiro ye.Era olwamukubidde ku ssaawa ze yatutegeezezza, yatusabye tumuweemu eddakiika 30 wabula olwazzeemu ookumukubira essimu, teyazaanukudde.