Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.
Faith Nakanwagi
Journalist @ New vision
Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.

OMUKULEMBEZE w'enzikiriza  y'abalokole Bishop Jahnson Bakashaba ow'ekkanisa ya Revival Outreach Ministries esangibwa e Bugongi mu disitulikiti y'e Kabale , atonedde ekitebe kya Poliisi  entebe n'ebikozesebwa ebirala mu ofiisi nga bino bibalirirwamu obukadde bubiri n'omusobyo. 

Ebintu bino abikwasizza DPC Brian Ampeire ng'ono asiimye ekikoleddwa Bp Bakashaba n'ategeeza nti abantu bangi mu kifo ky'okusiima poliisi ate bajoogerera mafuukuule nga wano w'asinzidde n'alangirira nga bw'agenda okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.