TOP
  • Home
  • Agawano
  • Minisita Anywar atya okutambulira ku maato?!

Minisita Anywar atya okutambulira ku maato?!

Added 3rd June 2020

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga mu Lwera. 

Mininisita w'eggwanga ow'amazzi n'obutonde Beatrice Anywar obuzibu yabusing'anye ku ssomero lye Kamuwunga bwe basoose okumutiisa  nti mmotoka ye tesobola kusaabala mazzi aganjadde mu mugga Yoludaani ne bamuleetera akaato bamusaabalizeemu.     

Wano abakungu ba NEMA n'omubaka omukyala owa Kalungu mu Paalamenti Aisha Ssekindi n'amyuka RDC Hajat Sarah Nanyanzi be basoose okusaabalira mu kaato bakakase minisita nti bisoboka.     

Oluvannyuma mmotoka ya NEMA yasoose mu mazzi bwe yagayisermu n'eya minisita negigoberera ne batuuka ku mwalo.

Anywar eno yagenzeeyo okwekkaanya butya bwassa mu nkola ebiragiro bya Pulezidenti okusengula abantu bonna abatyobodde obutonde bw'embalama z'ennyanja entobazi n'emigga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...

Mulindwa

NRM tennakkaanya ku by'okul...

AKAKIIKO ka NRM akafuzi ak’oku ntikko (CEC) kakyalemeddwa okukkaanya ku ngeri gye bagenda okutegakamu okulonda...

Apoo (ku kkono) n’abaana be. Ku ddyo ye Kamuli.

Ssemaka atiisizza okutta mu...

SSEMAKA yeeweredde okutta mukazi we lwa kugaana kuggyamu lubuto lwa balongo. Obutakkanya buno buli wakati wa...

Mmotoka ya Poliisi ebadde e...

Bino bibaddewo ku ssaawa ssatu ez'okumakya ga leero ku Lwokutaano e Kabowa we bayita ku katale ka Kidomoole ku...

Buli musajja gwe nfuna ande...

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza...