Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.
Ponsiano Nsimbi
Journalist @ New vision
Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Michael Wamala 43, ye yatemyetemye kitaawe James Kasozi Muwonhe gwe yalumbye mu makaage e Nabirama Kasenge mu Kyengera Town council mu disitulikiti y'e Wakiso.

Muwonge asangiddwa mu makaage ategeezezza nti Wamala aludde ng'ayagala okutunda ettaka lye eriwezako yiika 20 okuli n'ebiggya byabwe ng'amulemesa era kwe kumulumba mu kiro ekyakeesa Olwolutaano n'amutemaatema nga bw'amugamba nti ayagala ttaka lye.

Wamala eyatemyetemye kitaawe lwa mulugube gwa ttaka

Allan Kazibwe 13 muzzukulu wa Muwonge gw'abeera naye awaka wakati mu kugezaako okutaasa jjaajja we naye ekiso kyamukutte omukono.

Luke Oweyesigyire amyuka omwogezi was poliisi mu Kampala n'emirirano agambye nti batandise omuyigo gwa Wamala gwe bagguddeko ogw'okugezako okutta abantu ku fayiro nnamba SDREF:13/28/05/2020.

James Kasozi Muwonhe eyatemeddwa mutabani we