TOP

E Gomba bazuddeyo omulwadde wa COVID19 abatuuze ne basattira

Added 3rd June 2020

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Dr. George Kiwanuka

Dr. George Kiwanuka

Azuuliddwa mutuuze w'e Ngwribalya mu ggombolola y'e Mpenja mu disitulikiti y'e Gomba ng'ono abadde akola gwa kusuubula birime mu bitundu bya Gomba ebyenjawulo.

Bino bikakasiddwa akulira ebyobulamu mu Gomba, Dr George Kiwanuka ng'abyogeredde mu lukiiko olulwanyisa Covid 19 olutudde ku kitebe kya disitulikiti e Kanoni n'ategeeza nti omulwadde akuumirwa mu kifo ekikuumirwamu abalwadde ba COVID19 e Kabulasoke.

Dr. Kiwanuka ategeezezza nti omusajja ono yasangibwa aggudde ku kkubo ku kyalo Masambira e Mpenja gye yali agenze okusuubula ebirime nga yenna akolola nnyo gattako okubeera ne ssenyiga owamaanyi ne bamutwala mu kifo we bakuumira abalwadde ba Covid 19 gye bamukeberedde ne bakizuula nga mulwadde wa Coronavirus.

Olukiiko lwasazeewo okusindika abasawo abakugu mu kitundu omusajja ono gy'abadde abeera okunoonya abantu baabadde abeera nabo okutangira ekirwadde kino okusasaana mu kitundu.

Omulwadde ono egenda kutwalibwa mu ddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi kyokka DISO wa Gomba Andrew Kanywanyi n'asaba abantu e Gomba okwewala okusemberera abantu ababa mu bitundu by'ewala kubanga kizuuliddwa ng'omulwadde yagendako mu disitulikiti y'e Kyotera ekiteeberezebwa okuba nga gye yaggye ekirwadde kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...