TOP

Eyakedde mu Kampala bamukubye ne bamubbako ssente

Added 3rd June 2020

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya.

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Kino kiddiridde abavubuka abatambulira mu kibinja ekyakazibwako eggaali okuteega ne bakuba Wilfred Mwesigye eyabadde akedde mu kibuga ku Lwokubiri ne bamubba n'asigala ng'anyiga biwundu.

Mwesigye omutuuze w'e Ndejje Central mu Makindye Ssaabagabo yagambye nti yakedde mu kibuga era yabadde atambula ku luguudo lwa Bena Kiwanuka abavubuka abaabadde mu kibinja ne bamuyiikira ne bamukuba saako n'okumunyagulula.

Yagambye yalemeddwa okumanya omuwendo gw'abavubuka  ogwamulumbye. Baamubbyeko essimu ye ne ssente emitwalo 20 ze yabadde nazo yabadde akedde okugenda ku dduuka w'akolera.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano Luke Owoyesigyore yagambye nti poliisi egenda kwekebejja ebifaananyi ebyakwatiddwa kamera zaayo ez'oku nguudo basobole okubakwata.

Mwesigye yagguddewo omusango oguli ku fayiro nnamba SD 02/02/06/2020 ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...