TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kamaanyi eyatolosa Ssekabaka Muteesa II mu 1966 afudde

Kamaanyi eyatolosa Ssekabaka Muteesa II mu 1966 afudde

Added 3rd June 2020

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta, afiiridde mu makaage e Nyenga Buikwe.

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,  afiiridde mu makaage e Nyenga Buikwe.

Kamaanyi 84, aludde ng'atawaanyizibwa obulwadde bwa puleesa nga ne ku luno zaamukubye ku makaya g'Olwokubiri mu makaage n'afiirawo.

Kamaanyi ajjukirwa nnyo mu byafaayo bya Buganda olw'okutolosa Ssekabaka sir Edward Muteesa II okumuggya e Kampala okumutuusa e Butambala gye yasisinkanira basajjaabe okuli; Ssalongo Kitayimbwa Mumiransanafu abaamuyambako okumuddusa mu ggwanga, Obote bwe yalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta.

Wadde Dan Kamaanyi yali muvubuka muto ddala eyali yaakamala okusoma, yalaga obuvumu n'obumalirivu bweyasalawo okuvuga Muteesa okumutolosa Kampala era naakituukiriza, teyakoma okwo ate naagezaako okutta Milton Obote ng'agezaako okuwoolera olwa Obote okujooga Obuganda naalumba olubiri n'okuggyawo obwakabaka.

Yamuteega ng'ava ku mukolo ogumu e Luzira Ku parade y'abaserikale naamusindirira amasasi wabula naatafa.

Grace Sengaaga, kizibwe w'omugenzi agambye nti, Kamaanyi aludde ng'atawaanyizibwa obulwadde bwa puleesa nga ne gyebuvuddeko yafunamu ekirwadde ky'okusannyalala wabula naawona.

Omubiri gw'omugenzi guggyiddwa mu makaage agsangibwa e  Bugolo Nyenga negutwalibwa mu ggwanika mu ddwaaliro e Jinja, eno gyegunaaggyibwa Ku lw'okusatu gusuleko mu makaage ate Ku lw'okuna gugalamizibwe ku bijja bya ba Jjajaabe ku kyalo  Namabu Bugolo mu ggombolola y'e Nyenga, disitulikiti y'e Buikwe mu Ssaza ly'e Kyaggwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...