TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yakayimbulwa e Luzira bamukwatidde mu faamu

Abadde yakayimbulwa e Luzira bamukwatidde mu faamu

Added 5th June 2020

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza aba saluuni emirimu gyagootaana.

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Bya WASSWA B. SSENTONGO

JAMADA  Komakech nga mutuuze ku kyalo Kaayi, e Kawanda bamukutte lubona mu faamu ya Kawanda Research Institute ng'abba amatooke mu nnimiro.

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z'abakazi wabula okuva bwe bayimiriza aba saluuni emirimu gyagootaana.

Omuvubuuka ono bwe baamukutte yagezezzaako okwewoozaako ng'agamba nti enjala yemubbisizza kuba abadde talina kyakulya ate ng'alaba waliwo ekisobola okuliibwa n'asaba poliisi emusonyiwe.

Ssentebe w'e Kawanda Nkokonjeru, Steven Serwadda asabye abavubuka okugezaako okwenyigira mu mirimu emirala okulaba nga tebenyigira mu bubbi.

Omukwate akuumibwa ku poliisi y'e Kawanda nga okunoonyerezza bwe kugenda mu maaso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...