EKIRAGIRO ky'okukkiriza abasuubuzi abakolera ku nguudo za Nasser ne Nkurumah kyawuddemu abasuubuzi abakolera mu bizimbe (akeedi) n'amaduuka ag’enjawulo nga buli ludda lukitaputa mu ngeri yaalwo.
Kizito
Journalist @ New vision
EKIRAGIRO ky'okukkiriza abasuubuzi abakolera ku nguudo za Nasser ne Nkurumah kyawuddemu abasuubuzi abakolera mu bizimbe (akeedi) n'amaduuka ag’enjawulo nga buli ludda lukitaputa mu ngeri yaalwo.

Kino kyawalirizza Minisita w'ebyobusuubuzi, Amelia Kyambadde okulambika ng'alaga enjawulo wakati wa Shopping Mall ezakkiriziddwa okuggulawo, ne Akeedi ezaalagiddwa okusigala nga zikyaggaddewo.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga ku Mmande ekiro yakkirizza abasuubuzi abakolera ku Nasser ne Nkrumah, ssaako aba Mall, okuddamu okukola ate aba akeedi n'agamba nti bagira balindako.

Ekiragiro kino kyatabudde abasuubuzi nga beebuuza enjawulo wakati wa keedi ne 'mall' era abamu ku bakolera mu akeedi ne basooka okujaganya nga bagamba nti amaduuka mwe bakolera gagwa mu ttuluba lya 'mall'.

Abasuubuzi abamu abakoleraku Nasser ne Nkrumah nabo baakedde kujja mu kibuga nga bamanyi nti nabo bakkiriziddwa, kyokka tebaabaganyizza kuggulawo nga babategeezezza nti ebizimbe mwe bakolera bigwa mu kiti kya akeedi.

Bangi ku basuubuzi baasazeewo okuyimirira ku maduuka gaabwe wabweru naddala ku bizimbe okuli; Moonlight, Modern Arcade, Printer's Miracle, Muzza Printing ne Sarah Arcade.

Kyokka amaduuka amalala ku Nasser ne Nkrumah gakkiriziddwa okuggulawo ne gatandika okukola. Fred Ssekitto, omu ku basuubuzi abakolera mu Kampala wakati, yeebuuzizza enjawulo ya Nasser ne Nkrumah ze bakkirizza okuggulawo, ku maduuka amalala agali ku nguudo nga Luwuum, Wilson n'endala, okukkiriza amaduuka gaayo okuggulawo ate ng'agali ku nguudo endala gakyali maggale.

Kyokka James Lubega yasanyukidde eky'okuggulawo amaduuka agamu n'agamba nti kino kiwa essuubi aba akeedi nti nabo baakukkirizibwa okukola mu bbanga eritali lya wala.

ABAKEEDI BATIISIZZA OKUGGULAWO

Abasuubuzi abakolera mu Akeedi ez'enjawulo mu kibuga abakulembeddwa Godfrey Katongole (ssentebe wa KATA) baalaze obutali bumativu ne bagamba nti ‘Shopping Malls' ne Akeedi zonna zaazimbibwa mu ngeri yeemu.

Baagambye nti balina okutya nti bannaabwe bangi abaatabuddwa enjawulo wakati wa bino byombi, bayinza okutandika okuggulawo ku Lwokuna.

Ku Lwokubiri , enguudo za Nasser ne Nkrumah zaabadde za bbugumu nga bizinensi nnyingi zigguddewo, era amaduuka gonna agali wabweru w'ebizimbe nga gakkiriziddwa okuggulawo, kyokka ng'agali munda maggale.

Rashid Semmambo, omu ku basuubuzi akolera ku Akeedi ya Angels Plaza, yagambye nti ye ky'amanyi ku Lwokuna addamu okuggulawo edduuka lye.

MINISITA AMELIA ALAMBISE

Minisita Amelia Kyambadde yalambise nti Pulezidenti yakkirizza ‘shopping mall' okukola n'agaana Akeedi, era ekyo ky'ekigenda okussibwa mu nkola.

Yagambye nti ‘shopping mall' kibeera kifo ekinene ddala nga mulimu amaduuka ageetengeredde nga buli limu litunda ebintu bya kika kimu, abatundiramu babeera batono era bizimbibwa nga biriko n'ekifo ekigazi awasimbwa emmotoka.

Ezimu ku ziri mu Kampala kuliko; Acacia, Garden City, Freedom City n'endala. Yagambye nti Akeedi ebeeramu amaduuka amagazi kyokka nga tegeetengeredde era nga mu limu osobola okusangamu abakoleramu abakunukkiriza mu 10 ate nga buli omu atunda ebintu bya njawulo ku by'omulala.

Abamu batunda ngoye, abalala ssimu ate nga mu dduuka lye limu mulimu abatunda essaawa, kalifuuwa n'ebirala. Ekyawula amaduuka mu akeedi kabeera akakuubo katono ddala, ng'abantu kizibu okwewala okutambula nga tebeekoonako ate nga mu mall, olukuubo luba lunene ddala.

Yagasseeko nti Gavumenti yakoze okunoonyereza nga ku nguudo za Nasser ne Nkurumah kuliko ‘Shopping Malls' okusinga enguudo endala eziri mu masekkati g'ekibuga. Wano we baasinzidde okuddiramu abasuubuzi abakolerawo.