Mu kwogera kwa pulezidenti ku Mmande, yagambye nti aba boda bagira batambuza ebitereke, n’agattako nti kasita si zaabwe wabula z’abaggagga era be baagala azikkirize okusaabaza abantu.
Frank Lukwago
Journalist @ New vision
Mu kwogera kwa pulezidenti ku Mmande, yagambye nti aba boda bagira batambuza ebitereke, n’agattako nti kasita si zaabwe wabula z’abaggagga era be baagala azikkirize okusaabaza abantu.

Ebigambo bino byakanze aba bodaboda, ne bategeeza nti omulimu gwabwe gwandiba mu lusuubo.

Bonifance Bayishaka, ssentebe w'ekiwayi omwegattira aba bboodabbooda b'oku siteegi ez'enjawulo mu Kampala, ‘ekya Kampala Metropolitan Stages Association', yategeezezza nti waliwo abawa Pulezidenti amawulire amakyamu agakwata ku mulimu gwabwe.

Yagambye nti buli bwalowooza obugubi bwe bayitamu okusasula looni n'ebigambo bye bawulira nti si zaabwe kibeera kibeewunyisa. Yalaze okutya nti ebintu byabwe bye baasinga okufuna piki byandirugenda.

Frank Mutyaba, ssentebe w'ekiwayi kya Century Riders Association yatuuzizza olukiiko ku ofiisi zaabwe e Wakaliga, n'asaba Pulezidenti okubawa omukisa bamusisinkane bamunnyonnyole embeera gye bakoleramu.

Rashid Kawaawa, omwogezi w'abavuzi ba bodaboda mu ggwanga yagamabye nti Pulezidenti bw'aba ayagala okumanya ekituufu abuuze abaddukanya bbanka ez'enjawulo bamubuulire looni ze beewola.