Wabaluseewo obunkenke mu bizinga mu disitulikiti y’e Buvuma bwe wazuuliddwayo kati abantu babiri abalina ekirwadde kya COVId 19.
Nsubuga
Journalist @ New vision
Wabaluseewo obunkenke mu bizinga mu disitulikiti y’e Buvuma bwe wazuuliddwayo kati abantu babiri abalina ekirwadde kya COVId 19.

Amawulire g'omukyala eyasooka okuzuulibwa ne COVID 19 akulira eby'obulamu mu disitulikiti y'e Buvuma, Dr. Baker Kanyike y'agategeezezza bammemba mu lukiiko lwa COVID 19 ttasiki ffoosi olwatudde mu woofiisi ya RDC Agnes Nabirye ku Lwokutaano.

Wabula ate ku Lwomukaaga, Minisitule y'eby'obulamu yavuddeyo n'erangirira ng'omuntu omulala okuva e Buvuma bwe yabadde asangiddwa ne COVID 19 ng'ono yabadde ku bantu 36 abaazuuliddwa nga kati Uganda erina abantu 593 abalina Corona virus.

Dr. Kanyike yagambye nti bano bonna bava ku kyalo Bukayanja mu ggombolola y'e Bwema mu disitulikiti y'e Buvuma.

Yategeezezza nti omukyala eyasooka okusangibwa ne COVID 19 ng'alowoozebwa okuba nga ye yasiize n'omulala eyasembyeyo okulangirirwa yava ku Buvuma ng'ayita ku mwalo gw'e  Senyi mu ggombolola y'e Ssi-Bukunja mu disitulikkiti y'e Buvuma n'agenda okusisinkana ow'oluganda lwe ng'ono avuga bi lukululana ebiva ebweru w'eggwanga nga kiteeberezebwa ng'ono ye yamumusiiga.

Yagambye nti ono bwe yali addayo ewuwe mu Bwema yakeberebwa ku mwalo e Senyi ng'era alizaati bwe baazifunye okuva Entebe kwe kutegeeza ab'eby'obulamu e Buvuma olwo omuyiggo gwe ne gutandika okutuusa lwe baamuguddeko ku kyalo Bukayanja nga yali akwatagana n'abantu abawangaalira ku byalo bibiri.

Wabula Dr. Kanyike yagambye nti olw'obutaba na lyato lya amabyulensi baasanze obuzibu okufuna entambula ey'okumazzi eggya omukyala ono e Bwema okumutwala e Kiyindi olwo alyoke atwalibwe mu ddwaliro e Jinja gy'ali mu kujjanjabibwa.

Amyuka RDC w'e Buvuma Juma Kigongo ku ssimu ku Ssande yagambye nti bali mu kukola nteekateeka ku Mmande bagende e Bwema baggyeyo omuntu omulala eyaazuuliddwa ne COVID 19 olwo naye atwalibwe ajjanjabibwe.

Ye RDC Agnes Nabirye yagumizza abantu b'e Buvuma n'agamba nti yayogerezeganyizza n'abasawo mu ddwaliro e Jinjaa ne bamutegeeza ng'omulwadde ono bwali mu kufuna obujjanjabi.

Yalambuse amateeka agateekeddwawo ttasiki ffoosi okuli okuteeka kalantiini ku byalo bibiri mu ggombolola y'e Bwema okuli Bukayanja n'ekikirinaanye ng'eno abantu baakwo tebalina kuvaako kugenda ku byalo birala oba n'okugenda ku lukalu okumala ebbanga lya wiiki bbiri.

Wabula bakkiiriziddwa okugenda okuvuba ssaako okutambuza eby'amaguzi ng'eby'ennyanja basobole n'okufuna emmere nga mu lyato mulina okubeeramu abantu babiri bokka.

Yagambye nti kyandibadde kirungi abantu ne batatambulira ddala wabula ng'obutabeera na mmere yaakuliisa bantu bano y'ensonga lwaki babalese bavube n'okutambuza eby'amaguzi.

Omubaka w'e Buvuma mu palamenti Robert Migadde Ndugwa yagambye nti gye buvuddeko gavumenti eriko emmere gye yabawa ne bagigaba mu magombolola 3 ate nga lino ery'e Bwema omuli ebyalo ebyateekeddwako kalantiini teryafuna.

Yagambye nti nga ttasiki ffoosi bakkaanyizza bawandiikire aba ‘national task force' babasabe obuyambi kuba tebayinza kuteeka bantu mu kalantiini nga tebalina kye balya.

Amyuka RDC Kigongo yagambye nti wabaddewo obunkenke wakati wa poliisi n'abatuuze mu ggombolola lino olw'abassentebe b'ebyalo abaagala okuyingiza abagwira mu byalo bino ate nga kino kimenya mateeka agaateekebwawo.

Ye ow'eby'obulamu ku lukiiko lwa disitulikiti, Harriet Nakizito Musiho yagambye nti bali mu kutya olw'embeera eno ate nga n'eddagala tebalina ssaako ebikozesebwa abasawo okwekuuma ekirwadde kino.