TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Red Cross edduukiridde abaasengulwa amazzi mu bizinga e Buvuma

Red Cross edduukiridde abaasengulwa amazzi mu bizinga e Buvuma

Added 8th June 2020

Ekitongole kya Red Cross kyaddaaki kizzeemu omulanga gw’abatuuze mu bizinga by’e Buvuma abazze beekubira enduulu olw’amazzi agazze gabasengula mu myalo gye baaali babeera kati ebbanga lya myezi nga 6.

Mugisha owa Red Cross ng’alaga omukadde ng’ettaala y’amasannyalaze g’enjuba bw’ekola.

Mugisha owa Red Cross ng’alaga omukadde ng’ettaala y’amasannyalaze g’enjuba bw’ekola.

 
Sam Mugisha eyakulembeddemu aba Red Cross abaatutte obuyambi bw'ebintu ebikozesebwa ewaka yagambye nti baatutte ebintu omuli amaseffuliya, essowaani, ebikopo, bulangiti, obutimba bw'ensiri, ebidomola, eddagala erirongoosa amazzi ag'okunywa ssaako ettala ezikozesa amaanyi g'enjumba.

Mugisha yagambye nti obuyambi buno bwatuuse ku bantu mu maka agasoba mu 600 okuva mu byalo eby'enjawulo ebisangibwa mu Buvuma Town Council, Busamuzi ne Buwooya ng'okugaba ebintu kwamaze ennaku bbiri ku Lwomukaaga ne Ssande.

Abaana ku mwalo e Kyanamu nga batwala ebintu bye baafunye okuva mu Red Cross.

Yategeezezza nti okuvaayo kyaddirira omubaka omukyala ow'e Buvuma mu palamenti Jennifer Nantume Egunyu okwekubira enduulu eri ekitongole kya Red Cross n'alaga obulumi n'obwetaavu abantu bwe bayitamu sso ng'ate n'amazzi n'ekirwadde kya COVID 19 nakyo kibatuuza bufoofofo.

Omubaka Nantume yannyonnyodde ku bugubi abantu bwe bayitamu mu kiseera kino kyokka nga ku bizinga 52 ebikola disitulikiti bagenda kuteeka obuyambi ku kizinga kimu kyokka.

Abatuuze nga balinze okubagabira ebintu ebyaweereddwayo aba Red Cross.

Yategeezezza nti obwetaavu bukyaliwo nga kyetaagisa gavumenti n'ebibiina by'obwannakyewa okwongera biveeyo bibadduukirire.

Abamu ku batuuze abaafunye obuyambi baalaze essanyu kyokka ne bagamba nga bwe babadde bayita mu mbeera embi ennyo ng'ate n'eky'okulya nakyo tebakirina

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...