TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Spice Diana ali mu bire: Oluwangudde omudaali n'afuna ne kanyama amukuuma

Spice Diana ali mu bire: Oluwangudde omudaali n'afuna ne kanyama amukuuma

Added 8th June 2020

Spice Diana ebango ayongedde okuliwanika. Awangudde awaadi n'afuna ne kanyama kati amukuuma.


 


Kuno agasseeko okwewaana "kati nninda tuve mu muggalo mbalage waaka omupya."

Mwanamuwala ono yasiimiddwa ab'omukutu gwa Youtube oluvannyuma lw'okuweeza abagobereezi emitwalo 10  ku mukutu guno ne bamuwa omudaali gwa siriva (YOUTUBE Silver).

Spice kati yeegasse ku bayimbi abalala okuli; Jose Chameleone ne Rema abaaweebwa omudaali gwe gumu gye buvuddeko kyokka nga Kenzo eyasiimiddwa ab'omukutu gwe gumu omwezi oguwedde y'akyabasinze kubanga ye yafunye gwa zaabu oluvannyuma lw'okuweeza abagobereezi akakadde kamu.

Spice mu kwogerako ne Bukedde yagambye nti omudaali guno kabonero akalaga nti abantu basiima by'akola era kino kimuwadde embavu okwongeramu amaanyi mu by'akola.

Okumanya Spice omudaali guno gwamucamudde nnyo, bakira aweereza abawagizi be obubaka obw'okumukumu ng'essappe ng'oyinza okugamba liri mu 90 ng'enjogera y'ennaku zino bw'eri.

Mwanamuwala ono woosomera bino atambula agaziwa era ku wiikendi yalabiddwako ng'afunye ne kanyama amukuuma. Nkugambye!!! Abantu obwedda abamulaba ne kanyama ono nga beebuuza kimu; 'yamufunye kukuuma ngule gy'atambula nayo ng'alaga mikwano gye oba akuuma ye ng'omuntu?

Bya mpuna......

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...