Ggwanga yasooka kufuna okulumizibwa omutwe n'atwalibwa mu ddwaliro ly'amagye e Mbuya omwezi oguwedde. Oluvannyuma baamwongerayo mu ddwaaliro e Nakasero mu kasenge k'abalwadde abayi gy'abadde akyajjanjabirwa okutuusa w'afudde.
Frank Lukwago
Journalist @ New vision

Abasawo baazuula ng'omusaayi gwe gwali gwekutte mu gumu ku misuwa ku mutwe. Baamulongoosa n'adda bulungi engulu. Kyokka abasawo baasalawo okumukuumira mu ddwaaliro nga beetegereza embeera ye. Abajaasi ba UPDF be babadde bakuuma akasenge mw'abadde ajjanjabirwa.

Kigambibwa nti abadde alina ekizibu ku mawuggwe agaakosebwa ennyo okufuuwa sigala.

  • Yaweebwa ekitanda mu January wa 2016, mu ddwaliro lya IHK e Namuwongo nga tasobola kussa bulungi.
  • Kasirye Ggwanga badde muwi w'amagezi eri Pulezidenti ku nsonga z'ebyokwerinda mu Buganda.
  • Yazaalibwa mu 1952 e Katakala mu Mityana.
  • Yali ssentebe wa disitulikiti y'e Mubende okuva mu 2001 okutuuka mu 2006 lwe yawummula. Yali yasalawo okutandika okubeera mu kyalo e Nkene mu Ggombolola y'e Maanyi mu Mityana gy'alina faamu.
  • Eno gy'asinziira okussa mu nkola kaweefube gwe yatandika okutaasa ebibira mu Buganda nga takkiriza bantu kutemamu miti.
  • Yaakakuba emmotoka bbiri amasasi ne zaabika emipiira nga zitisse emiti.
  • Amagye yagayingira mu 1972 ku mulembe gwa Idd Amin. Yagannyuka mu 2018.