EGGULO Bobi Wine yatuuzizza olukung'aana lwa bannamawulire e Kamwokya okwongera okukakasa eggwanga nti agenda kuvuganya ku Bwapulezidenti mu 2021.
Frank Lukwago
Journalist @ New vision
EGGULO Bobi Wine yatuuzizza olukung'aana lwa bannamawulire e Kamwokya okwongera okukakasa eggwanga nti agenda kuvuganya ku Bwapulezidenti mu 2021.

EGGULO Bobi Wine yatuuzizza olukung'aana lwa bannamawulire e Kamwokya okwongera okukakasa eggwanga nti agenda kuvuganya ku Bwapulezidenti mu 2021.

Kino kyaddiridde ebyabadde bisaasaana ku mikutu gya yintaneti nti yasazeewo okuva mu lwokaano lw'Obwapulezidenti nti addemu avuganye ku kifo ky'obubaka bwa Palamenti ky'alimu kati ekya Kyaddondo East.

Bobi Wine bino yabisambazze n'agamba nti amanyi ababiri emabega era ebigendererwa byabwe bya kumalamu bawagizi ba People Power maanyi, nti kyokka ekyo tebagenda kukikkiriza.

Bobi ne ttiimu ye baafukamizzaako okugulu kumu mu lukuhhaana luno ng'akabonero k'okujjukira Omuddugavu George Floyd aba poliisi mu Amerika gwe baafukamidde ku nsingo ne bamutta ekyavuddeko okwekalakaasa mu bibuga bya Amerika eby'enjawulo, mu Bungereza n'amawanga amalala.