
Omuwendo gw'abasawo n'abaserikale abakwatibwa Corona gwongedde okweraliikiriza bwe bazuddeyo abasawo abalala bana n'abaserikale basatu abalina Corona.
Bano be bamu ku bantu 30 abapya be baazudde nga balwadde.
Minisitule y'ebyobulamu eggulo yatageezezza nti kati baazudde abasawo abalala bana ekyawezezza Abasawo 22 be baakazuula nga balina Corona.
Bino byabadde mu miwendo gye baafulumizza eggulo mwe baazuulidde abaserikale 4 okuva mu disitulikiti y'e Luweero nabo balina corona.
Abantu 3,758 be baakebeddwa ku Ssande ne baazudde abalwadde abapya 30 ne kirinnyisa omuwendo gw'abantu 646 abaakazuulwa mu Uganda.
Abalwadde abalala be baazudde kuliko baddereeva ba ttuleera 4 abaavudde e South Sudan ne bayingira Uganda nga bayitira ku nsalo y'e Elegu.
Omulwadde omulala yabadde ddereeva wa ttuleera eyavudde e Kenya ng'ayitira e Busia.
Abalwadde 18 bantu be bazze bazuula nga babadde batabagana n'abo abalwadde be bazze bafuna; e Kampala, 1, Buikwe bazudde 3, Wakiso 1, Kyankwanzi 2, Amuru 4, Arua 2, Buliisa 1 ne Kisoro 1.