Gen. Colin Powell eyali omuduumizi w’amagye n’oluvannyuma minisita wensonga zebweru ku mulembe gwa G.W. Bush Junior yalangiridde nti wadde ayagala nnyo ekibiina kye ekya Republican, asazeewo kulonda Joe Biden mu kalulu ka November.
Musasi wa Bukedde
Journalist @ New vision
Gen. Colin Powell eyali omuduumizi w’amagye n’oluvannyuma minisita wensonga zebweru ku mulembe gwa G.W. Bush Junior yalangiridde nti wadde ayagala nnyo ekibiina kye ekya Republican, asazeewo kulonda Joe Biden mu kalulu ka November.

Ate Mitt Romney eyavuganya mu kamyufu ne Trump mu 2015, ku Ssande yeegasse ku beekalakaasi mu Washington DC.

Ye Condoleezza Rice eyali minisita wensonga zebweru ku mulembe gwa Bush naye yavuddeyo yalangiridde okukola kampeyini ng'akunga Abamerika obutaddamu kulonda Trump.

Wiiki ewedde, bagenero babiri abaali abaduumizi b'amagye ga Amerika; Mike Mullen ne Martin Dempsey be baasoose okwesowolayo okulabula Trump aleme kuyingiza magye mu byabufuzi. Bano beegattiddwako Gen. James Mattis eyali minisita w'ebyokwerinda mu 2017-2019.

Ettemu lyali Minneapolis mu ssaza ly'e Minnesota era okwekalakaasa gye kwatandikira ne kusaasaanira Amerika yonna. Amawanga amalala nayo abantu bagenze basituka okwekalakaasa era ku Ssande embeera yasajjuse e Bungereza.