Ibrahim Mbowa, amyuka ssentebe wa KAAFO, yategeezezza nti Pulezidenti yabasuubiza okuddamu okubasisinkana abasalire amagezi ku ngeri entuufu gye bagenda okuddamu okwesitula mu bizinensi zaabwe ezisoomozeddwa corona.
Moses Kigongo
Journalist @ New vision
Ibrahim Mbowa, amyuka ssentebe wa KAAFO, yategeezezza nti Pulezidenti yabasuubiza okuddamu okubasisinkana abasalire amagezi ku ngeri entuufu gye bagenda okuddamu okwesitula mu bizinensi zaabwe ezisoomozeddwa corona.

ABASUUBUZI abakolera mu Akeedi bazzeemu okukkaatiriza nti tebagenda kusasula bannannyini bizimbe ssente za bupangisa. Mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza eggulo mu Kampala, abasuubuzi abeegattira mu bibiina ebyenjawulo okuli KATA ne KAAFO, baagambye nti bakyanyweredde ku kye baasaba Pulezidenti Museveni lwe baamusisinkanye okubasonyiwa ssente ez'emyezi esatu gye bamaze mu muggalo nga tebakola.

Abasuubuzi okuwera batyo, kiddiridde abagagga bannannyini Akeedi z'omu Kampala okusisinkana minisita w'Ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde, ne bakkaanya ku nsonga ez'okwanjulira Pulezidenti abaggulewo baddemu bakole nga bwe basasula ebbanja ekkadde. Baagambye nti tebayinza kusasula ssente nga babadde tebakola era essuubi lyabwe liri wa Pulezidenti.