OBULWADDE bwa ssennyiga omukambwe (corona) bukosezza ebyenfuna by’eggwanga omwaka gw’ebyensimbi oguwedde ne bikirira ku bitundu 3.1 ku 100 bwogeraageranya n’omwaka ogwayita 2018/19 we byakula ebitundu 6.1 ku 100.
Kizito Musoke
Journalist @ New vision
OBULWADDE bwa ssennyiga omukambwe (corona) bukosezza ebyenfuna by’eggwanga omwaka gw’ebyensimbi oguwedde ne bikirira ku bitundu 3.1 ku 100 bwogeraageranya n’omwaka ogwayita 2018/19 we byakula ebitundu 6.1 ku 100.

Bino byayogeddwa Chris Ndatira Mukiza akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubala obungi bw'abantu n'ebintu mu ggwanga ekya UBOS. Yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza eggulo.

Yagambye nti omwaka gw'ebyensimbi 2019/20 gwali gutambudde bulungi ekitundu ekyasooka okutuuka mu December wa 2019.

Enkulaakulana yali yaabitundu 5 ku 100. Kyokka okuva ekirwadde kya corona lwe kyatandika ebyenfuna byaddirira. Kyokka eby'obulimi byakoze kinene okuwanirira ebyenfuna kuba byakulidde ku bitundu 23.7 ku 100 nga kino okusinga kyavudde ku mmere ebaddewo mu bungi.

Eby'empuliziganya n'ebya tekilogiya byakulidde ku bitundu 34.3 ku buli 100 nga kino kyavudde ku bantu ababadde bakozesa ennyo emikutu gy'ebyempuliziganya nga baagala okumanya ebifa mu nsi.

Ebimu ku bintu ebyakoseddwa ennyo mulimu ebyobusuubuzi, ebyentambula, okulabirira abantu n'ebyokwesanyusa. lEbyobulambuzi bijja kutwala ekiseera okudda engulu kuba abalambuzi bajja kutwala ebbanga erisussa mu mwaka nga bakyatya okutambula.

Kkampuni nnyingi zigenda kusala ku ntambula y'abakozi era ng'embeera y'obuteeriraana ejja kutwala ekiseera okuggwa mu bantu.

Mukiza, yalaze nti ebyobulimi tebyakoseddwa nnyo era basuubira mu bbanga lya myezi mukaaga okuba nga bizze bulungi engulu abantu bwe banaaba bazzeemu okukola. Kino era bwe kiri ku by'obulunzi. Kyokka ebyobuvubi kijja kubitwalira ebbanga eriri wakati w'emyezi omukaaga n'omwaka okudda engulu kuba abantu bagenda kutwala ekiseera nga bakyali baavu.

Ebyobuzimbi byakoseddwa nnyo era okuddamu okutereera kijja kutwala ebbanga eriweza omwaka n'okusingawo.

Ebyamakolero byakulidde ku bitundu 2.3 ku 100 nga byaddiridde bw'obigeraageranya n'omwaka gwa 2018/19 we byakulira ku bitundu 10 ku buli 100.

Ebyobuweereza (services) byakuze kitono n'ebitundu 3.6 ku buli 100 mu mwaka oguwedde, bwogeraageranya n'ebitundu 5.7 ku buli 100 kwe byakulira mu 2018/19.

Emisolo egisoloozebwa ku bintu gyakendedde ekitundu 1.3 ku buli 100 mu 2019/20 ate ng'omwaka gwa 2018/19 gyali ku bitundu 5.8 ku buli 100.

Eby'entambula byakoseddwa naddala ennyonyi, kyokka eggwanga nga bwe ligenda liteebwa okuva mu muggalo n'ebyamaguzi ebitambulira mu bbanga eritasussa mwaka bijja kuba biteredde.

Ekitongole kya UBOS, kiriko amagezi ge kyawadde agalina okwettanirwa okusobola okuzza ebyenfuna engulu. Mulimu okuyamba eby'obulimi nga bakola ebibiina mu bavubuka, abakyala n'ebibiina by'obwegassi babayambire wamu.

Abalimisa n'abasawo abalala abakugu balina okwongerwa mu bitundu abantu basobole okulima n'okulunda ebintu ebiri ku mutindo beewale okufiirizibwa.

Gavumenti erina n'okulowooza ku ngeri gy'esobola okukendeeza ku misolo eri kkampuni ezikoseddwa ennyo kuba bwe ziba teziyambiddwa kyangu obutadda ngulu.

Mukiza yagambye nti wadde ng'ebyenfuna tebyakuze nga bwe byali bisuubirwa, bwogeraageranya Uganda n'amawanga mangi agaakula, kyeraga nti yakoze bulungiko.