MUSAAYIMUTO wa BUL FC, Reagan Kalyowa aweze nga bw'agenda okuyamba ttiimu ye okuwangula ekikopo sizoni ejja. Kalyawo 18, eyaakasuumuusibwa okuva mu ttiimu ento, agamba nti wadde ekirwadde kya ssennyiga omukambwe aleetebwa akawuka ka coronavirus, kyamulemesezza omukisa ogusooka ogw'okuzannyira ttiimu enkulu, mumalirivu nti sizoni eno ejja agenda kugiyamba.
Frank Lukwago
Journalist @ New vision
MUSAAYIMUTO wa BUL FC, Reagan Kalyowa aweze nga bw'agenda okuyamba ttiimu ye okuwangula ekikopo sizoni ejja. Kalyawo 18, eyaakasuumuusibwa okuva mu ttiimu ento, agamba nti wadde ekirwadde kya ssennyiga omukambwe aleetebwa akawuka ka coronavirus, kyamulemesezza omukisa ogusooka ogw'okuzannyira ttiimu enkulu, mumalirivu nti sizoni eno ejja agenda kugiyamba.

Kalyowa yafuna obuvune obwamulemesa okuzannya, ate bwe bwawona emizannyo ne giwerebwa olwa corona, n'oluvannyuma FUFA n'esazaamu liigi.

BUL yamalira mu kyamukaaga Erinnya yalikola mwaka guwedde bwe yateeba ggoolo bbiri ezaayamba BUL Junior Team okusitukira mu kikopo kya liigi ya FUFA ey'abato, bwe baakuba KCCA (3-0).

''Ng'enda kufuba okwekuumira ku mutindo, sizoni ejja etandike nga ndi ffiiti. Njagala kuteeba ggoolo15 mu sizoni yange esooka ndabe nga waakiri mpitibwa ku ttiimu y'eggwanga ey'abato," bwe yagambye.

Agamba nti yeegomba nnyo omuteebi wa KCCA FC, Mike Mutyaba olw'ekitone ky'ayolesa mu liigi.