IFAB, ekibiina ky'ensi yonna ekivunaanyizibwa ku mateeka g'omupiira, kyagadde nnyo okugatereezaamu, kyokka nga tekyekubye ndobo. Mu mpaka omuli okusimulagana peneti (obunnya) okusalawo ttiimu ewangula oba egenda ku luzannya oluddako, amateeka gagamba nti omuzannyo guba gumaze okuggwa.
Frank Lukwago
Journalist @ New vision
IFAB, ekibiina ky'ensi yonna ekivunaanyizibwa ku mateeka g'omupiira, kyagadde nnyo okugatereezaamu, kyokka nga tekyekubye ndobo. Mu mpaka omuli okusimulagana peneti (obunnya) okusalawo ttiimu ewangula oba egenda ku luzannya oluddako, amateeka gagamba nti omuzannyo guba gumaze okuggwa.




Eyo y'emu ku nsonga lwaki ne ggoolo eziva mu 'bunnya' buno teziteekebwa ku bateebi (tezibalwa). Wadde nga ddiifiri asigaza obuyinza bwe okulaga kaadi yonna ng'obunnya bugenda mu maaso, eno kaadi tejjanga kukwatagana na zinaagabwa mu ddakiika 90.

Kitegeeza nti omuzannyi eyalagiddwa kaadi eya kyenvu mu ddakiika 90, bw'ayongerwa endala nga bakuba 'obunnya', ajjanga kusigala ku kisaawe, tewali kumuwereekerezaako mmyuufu. Ggoolokipa bongedde okumutaasa mu bunnya bw'aba ng'asimulwa peneti.

Etteeka eppya ligamba nti peneti tejja kuddibwangamu nga ggoolokipa akoze ekisobyo kyonna kakibe ng'omuzannyi asimudde omupiira n'agukuba ku muti oba ebweru, okuggyako nga ggoolokipa oyo asimudde peneti okugeza singa ava ku layini mmita nga bbiri. Ddiifiri bw'asalawo okuddamu peneti olw'ekisobyo ggoolokipa ky'akoze, kaadi eya kyenvu ebadde emulagibwa, eggyiddwaawo ku mulundi ogusooka.

Bw'addamu okukola ensobi n'eremesa ggoolo okunywa, olwo nga kaadi emulagibwa. Ekirala ekyakkaatiriziddwa kiri ku 'offside' oba okukuuma.

Kimanyiddwa nti, omuzibizi bw'azannya omupiira mu bugenderevu, ng'oggyeeko okuwonya ggoolo, ne gugenda ku muteebi abadde akuumye, omuteebi oyo tabonerezebwa 'offside'.

Entaputa y'etteeka eno y'egenda okweyambisibwa ng'omuzibizi akoze 'handball' mu bugenderevu, ng'oggyeeko ggoolokipa awonya ggoolo. Omuzibizi okukwata omupiira n'engalo mu bugenderevu, ne gumulema okunyweza ne gugwa ku muteebi akuumye, tajja (omuteebi) kubonerezebwa 'offside', kubanga omuzibizi azannye agenderedde, wadde ng'omupiira akutte mukwate.

Okulaga omuzannyi kaadi ya kyenvu olw'okuwandula amalusu, Collina, akulira akakiiko ka baddifiri mu FIFA, yakigaanyi. Ku sabusityuti ettaano, nze ze mpita eza Covid kubanga lino etteeka lya kiseera buseera, okusobozesa amawanga okumaliriza empaka zaazo, FIFA ye yasabye IFAB, olw'okubanga emizannyo mingi ate ng'obudde buweddeyo.

Ttiimu zikkirizibwa okukola sabusityuti ttaano mu mirundi esatu. Wabula bakkirizibwa okukola sabusityuti mu budde bwa 'half time', oba bwe wabaawo 'extra time' nga tebannaddamu.

Mu ngeri etyo, ekyo tekibalirwa ku mirundi esatu egiweebwa ttiimu ng'omuzannyo gugenda mu maaso. Etteeka bwe liritongozebwa okuva ku ssatu, IFAB ejja kutegeeza ensi.

Mu liigi y'e Girimani emabegako, Jadon Sancho, yateeba ggoolo ne yeeyambula omujoozi, nga munda mulimu omulala okwali ebigambo; 'Justice for George Floyd'.

Ddiifiri yamulaga kaadi eya kyenvu, bangi ne bakitaputa nti ebigambo ebyo bye byavaako kaadi. Kino si kituufu, kaadi yali ya kuggyamu mujoozi ng'ajaganyiza ggoolo.

Mu mateeka, ddiifiri talaga muzannyi kaadi olw'ebigambo ng'ebyo. Akiwandiika buwandiisi mu lipooti ye, abategesi b'empaka be bamanya eky'okukola!

alitomusange@yahoo.com 0772624258