TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Revita omuzibizi wa KCCA asiibuddwa mu ddwaliro lya CoRSU

Revita omuzibizi wa KCCA asiibuddwa mu ddwaliro lya CoRSU

Added 9th June 2020

OMUZIBIZI wa KCCA FC ne Uganda Cranes John Revita alongooseddwa evviivi nga kati waakumala ebbanga eriri wakati w’emyezi 6-9 okuddamu okuzannya omupiira.

Ravita yafuna obuvune mu February w'omwaka guno KCCA bwe yali ekubwa URA FC 3-1 mu Startimes Uganda Premier League ku kisaawe e Ndejje era abadde n'obuvune buno okutuusa ku Monday 8, 2020 bwe yalongoseddwa mu ddwaliro lya CoRSU e Kisubi.

Moses Magero omwogezi wa KCCA FC agamba nti Revita yafuna obuvune obumanyiddwa nga Anterior Cruciate Ligament (ACL) nga waakumala wakati w'emyezi 7-12.

"Omuzannyi waffe yalongoseddwa bulungi era abasawo ne bamusiibula nga kati ajjanjabirwa waka ate oluvannyuma lw'ebbanga eggere ajja kuba azzibwayo mu ddwaliro ly'amagumba e Kisubi okwekebejjebwa," Magero bwe yakakasizza.

Revita yeegatta ku KCCA FC mu August w'omwaka oguwedde ng'ava mu Express FC ng'eno ebadde sizoni ye yaakubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...