
Poliisi y'e Nakirebe ng'eri wamu ne poliisi y'ekitongole kya NEMA ekivunaanyizibwa ku butonde bw'ensi bakutte mmotoka za kkampuni ya China Civil Engineering Construction Corporation (CCECC) ekola oluguudo lwa Busega - Mpigi lwa kwonoona butonde bwa nsi e Kavule mu Mpigi town council ne bazitemako nnamba zaazo ne bazitwala.
Ebimotoka bya kampuni eno okuli ebisomba ettaka ne bittulakita ebisenda, okukwatibwa kiddiridde okuzikwata lubona nga ziyiwa ettaka mu lutobazi e Kavule mu Mpigi.
Poliisi ng'ekulembeddwamu OC w'e Nakirebe Joshua Rugwiza basazeeko mmotoka ezibadde ziyiwa ettaka ezisoba mu ttaano ne bazitemako nnamba puleeti ne bazitwala kyokka baddereeva baazo ne babulawo.
Omu ku bakungu mu kkampuni eno Peter Lee atuuse mu kifo kino n'abamu ku bakozi be ne beegayirira poliisi n'abakungu ba NEMA babasonyiwe kyokka ne bagaana era mmotoka zino ne zisikibwa ne baziteeka mu kabuga k'e Kavule nnamba puleeti zaazo ne zitwalibwa.
Rugwiza ategeezezza nti ensonga zino azikwasizza poliisi ya NEMA era baakuvunaanibwa omusango gw'okwonoona obutonde bwensi era n'alabula ne kkampuni endala ezigufudde omugano okuyiwa entuumu z'ettaka mu ntobazi nti baakukwatibwa.