Abalimi bano abasoba mu 100 nga balimira mubugazi bw'ettaka obuwezza yiika 20 bagamba amaanyi gaabwe n'ebiseera byebatadde mu kulima bibafudde togge.
Kino abalimi bakitadde ku gavumenti n'aboobuyinza e Kayunga okuziyiza abasuubuzi b'ebirime okutuuka ku balimi nga kino baakikola okutangira ekirwadde kya COVID-19 okusasaana.
Siraje Luwaga akulira abalimi bano agamba nti abasuubuzi ab'e Kenya bebabadde bagula ebirime bino mu bungi wabula kati baaziyizibwa okutuuka ku balimi byalo.
Ab'obuyinza e Kayunga nga bakulirwa RDC Kikomeko Mwanamoiza baayisa ekiragiro ne bagaana abasuubuzi okunoonya ebirime mu byalo ne babakung'anyiza mu bifo okuli Maligita, Kamuli ne Senda awo abalimi we babasanza ebirime ne babigula wabula nti kati babadondola.
Luwaga agamba nti amakubo mabi ate abalimi bangi tebalina busobozi butambuza birime kubituusa ku baguzi ate n'amakubo mabi.
Bawanjagidde omubaka wa Ntenjeru North Amos Lugoloobi okubafunira obutale n'okubayamba okulongoosa ekkubo.