ABALIMI b'enyaanya, Green paper, emboga n'enva endiirwa abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Namutya Small Scale Scheme mu ggombolola y'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga ge bakaaba ge bakomba olw'ebirime byabwe bino bye babadde balimye mu bungi okubulwa akatale.
Saul Wokulira
Journalist @ New vision
ABALIMI b'enyaanya, Green paper, emboga n'enva endiirwa abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Namutya Small Scale Scheme mu ggombolola y'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga ge bakaaba ge bakomba olw'ebirime byabwe bino bye babadde balimye mu bungi okubulwa akatale.

Abalimi bano abasoba mu 100 nga balimira mubugazi bw'ettaka obuwezza yiika 20 bagamba amaanyi gaabwe n'ebiseera byebatadde mu kulima  bibafudde togge. 

Kino abalimi bakitadde ku  gavumenti n'aboobuyinza e Kayunga okuziyiza abasuubuzi b'ebirime okutuuka ku balimi nga kino baakikola okutangira ekirwadde kya COVID-19 okusasaana.

Siraje Luwaga akulira abalimi bano agamba nti abasuubuzi ab'e Kenya bebabadde bagula ebirime bino mu bungi wabula kati baaziyizibwa okutuuka ku balimi byalo.

Ab'obuyinza e Kayunga nga bakulirwa RDC Kikomeko Mwanamoiza baayisa ekiragiro ne bagaana abasuubuzi okunoonya ebirime mu byalo ne babakung'anyiza mu bifo okuli Maligita, Kamuli ne Senda awo abalimi we babasanza ebirime ne babigula wabula nti kati babadondola.

Luwaga agamba nti amakubo mabi ate abalimi bangi tebalina busobozi butambuza birime kubituusa ku baguzi ate n'amakubo mabi.

Bawanjagidde omubaka wa Ntenjeru North Amos Lugoloobi okubafunira obutale n'okubayamba okulongoosa ekkubo.