ABAANA abasoba 25 be balongooseddwa obulemu ku mimwa n’omulanga eri abazadde okukomya okulagajjalira abaana abaliko obulemu kubanga bwebajjanjabibwa basobola okufuuka ab’omugaso eri eggwanga.
Dickson Kulumba
Journalist @ New vision
ABAANA abasoba 25 be balongooseddwa obulemu ku mimwa n’omulanga eri abazadde okukomya okulagajjalira abaana abaliko obulemu kubanga bwebajjanjabibwa basobola okufuuka ab’omugaso eri eggwanga.

Omwami wa Kabaka atwala essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisirizza yeyakubiriza abazadde abalina abaana BANAKIMU nga bano bebazaalibwa n'emimmwa emyaase nga bano bakungaanyiziddwa ku St. Joseph Hospital e Wakiso okulongoosebwa.

"Abazadde temugezaako kukotoggera mu mbeera yonna abaana bano kubanga bw'atyo Katonda bwe yabatonda. Temugaana kubalabirira wamu n'okunoonya obujjanjabi kubanga basobola okutereezebwa ne bafaanana ng'abaana abalala," Ssebwana Kiberu bwe yategeezezza.

Dr. Nicholas Mugagga nga y'akulira eby'obulamu mu ssaza ly'e Busiro yategezezza ng'obuzibu businga kuva ku bakyala b'embuto abeewa eddgala awatali kusooka kugenda mu basawo nga balowooza bakendeeza bulumi!

"Ku buli baana 10000 abazaalibwa, 14 bazaalibwa n'emimwa emyase nga kino oluusi kibeera mu butonde bw'omuntu, abakyala abali embuto okweewa eddagala eritalagiddwa musawo,abakyala obutafuna birungo byetaagisa mu mubiri nga bali mbuto okuli ebizimba omubiri," Dr. Mugagga nga y'akulira St. Joseph Hospital bweyayogedde ku bireeta obulemu buno.

Dr. Mugagga yategeezezza nga bwebtandise okulongoosa abaana bano okutandika olwa Mmande June 8, 2020 era nga baakugenda mu maaso n'okulongoosa abaana bano we bajjira nga kino kikolebwa ku bwereere. 

Essaza ly'e Busiro likolagana n'ekibiina ekiyitibwa Smile Train ekikulemberwa Dr. Sr. Justine Najjuka ng'ono yategeezezza nti abazadde bangi tebaagala kujjanjaba wadde n'okuliisa abaana bano bwe batyo ne bakulira mu mbeera ey'okukonziba.