OBUTAKKAANYA Maj. Gen Ka­sirye Ggwanga bw'abadde nabwo n'abamu ku booluganda yandiba nga y'emu ku nsonga eyamuwali­rizza okulaama obutamuziika ku kiggya kya ffamire e Katakala n'asalawo bamuziike ku ffaamu ye e Nkene mu Busujju.
Musasi wa Bukedde
Journalist @ New vision
OBUTAKKAANYA Maj. Gen Ka­sirye Ggwanga bw'abadde nabwo n'abamu ku booluganda yandiba nga y'emu ku nsonga eyamuwali­rizza okulaama obutamuziika ku kiggya kya ffamire e Katakala n'asalawo bamuziike ku ffaamu ye e Nkene mu Busujju.




Obutakkaanya buno bubadde bumanyiddwa ab'omu kitundu era ng'ensonga baazituusaako ne ku poliisi olw'okulemwa okukkaanya. 

Edisa Nalwanga, muliraanwa w'amaka g'omugenzi Ssaalongo Yovan Kasirye azaala Ggwanga yagambye nti omugenzi abadde ku mbiranye ne baganda be  abamu era eky'okusalawo i okumu­ziika e Busujju n'ataziikbwa ku kiggya tekyamwewuunyisizza. 

"Simanyi mirundi gye ntaawu­ludde ntalo wakati wa Kasirye ne mwannyina, Elizabeth Nab­wami Kasirye abeera awaka, babadde tebalima kambugu," bwe yatandise emboozi. 

Yagambye nti Kasirye Ggwanga buli lw'abadde asoowagana ne mwannyina ng'asala ekkubo n'agenda ewa Nalwanga amanyid­dwa nga Nnamwandu Kalumba. 

Agamba nti embeera eno yatu­uka n'okumukyaya ewa Nabwami ng'alaba nga abeera ku ludda lwa Ggwanga, kyokka ye kino teya­kifaako kuba yali ayagala kimu mirembe na kukkaanya.

Yatandika okumanya ennyo obutakkaanya obubaddewo nga bakadde baabwe bafudde buli omu n'afuna gy'alaga. Nabwami ye yasigala mu maka ng' agalabirira  n' okukuuma ekiggya. 

Abooluganda abamu tebakya­tawaana wadde okukyama mu maka gano kuba tebeetaay- izaawo. 

Lumu Kasirye yajja n'antegeeza nti "maama mwan­nyinaze annumya omutwe, buli lwe 1111enda awaka oluba okundaba ng'aggalawo enny­umba, tanzikiriza na kugiyingiramu. Mu nnyumba ya kitange ne mmange!' 

Yagasseeko nti gye buvud­deko ng' omugenzi anaatera okulwala olwasembyeyo, waaliwo olutalo olw'amaanyi Awaka era ng'agugulana ne mwannyina. 

Yasanga emiti gy'emiyembe gye yasimba awaka nga mwannyina yagitemye n'agyokyamu amanda. Bwe yatuuka olutalo lwasituka era bwe yalaba kimususseeko n'alinnya emmotoka ye n'agenda. 

Nalwanga yagambye nti okusinziira ku byamanyi, Kasirye Ggwanga y'abadde abasinza enkizo mu byenfuna n'okuweesa ffamire ekitiibwa era abamu babadde bamukwatirwa obuggya. 

NABWAMI AYOGEDDE 

Nabwami yagambye nti Kasirye okuziikibwa e Busujju tekyam­wewuunyisizza kuba ng' omuntu abeerako ky'ayagala. 

Ku butakkaanya ne mwannyina yasoose kugaana kyokka oluvan­nyuma yagambye nti; 

"Omugenzi y'abadde anzirako era okubeera n'ebitiibwa tekitegeeza nti towa bakulu bo kitiibwa," 

Bannyina ba Kasirye abalala okuli; Jane Namirembe ne Rose Nabukalu baagambye nti baafiirid­dwa empagi luwaga mu ffamire. 

Ku butakkaanya mu ffamire baagambye nti bo babadde bakwatagana bulungi n'omugenzi wabula ekizibu kye abadde taya­gala muntu kumwesooka nga ye tannakunyega.