MEEYA wa Munisipaali y'e Nakawa, Ronald Balimwezo asobeddwa eky'okukolera engule ebbiri n'ekitabo Omugenzi Ka­sirye Ggwanga bye yamulekera.
Musasi wa Bukedde
Journalist @ New vision
MEEYA wa Munisipaali y'e Nakawa, Ronald Balimwezo asobeddwa eky'okukolera engule ebbiri n'ekitabo Omugenzi Ka­sirye Ggwanga bye yamulekera.





Balimwezo agamba nti Kasirye Ggwanga yamusanga mu ofiisi ye, n'amukwasa engule bbiri: emu Pulezidenti Museveni gye yamuk­wasa ng'awummula amagye mu 2018 n'endala gye yafuna okuva ku Kibuli SS mu 2013 nga bamusiima okubeera omu ku baa­somerayo gattako ekitabo "1HE BELL 1990" ekimwogerako bwe yali mu ttendekero ly'amagye mu Amerika. 

Ng'amukwasa ebintu ebyo, Balimwezo yagambye nti Ka­sirye yamukuutira okubikuuma obutiribiri kubanga byamuwendo. Yagambye nti kati asobeddwa ekyokukola kubanga Kasirye afudde tamubuulidde kyakukola n'agamba nti kati alinda kulaba oba byayogerwako mu kiraamo. 

Balimwezo yategeezezza nti en­kolagana ye ne Maj. Gen. Kasirye Ggwanga yatandika mu 2014 bwe baasisinkana ku leediyo emu n'amutegeeza nti yali aludde ng'amugoberera olw'engeri gy' alwanirira abantu baawansi.