OBUTAKKANYA wakati wa FUFA ne kiraabu za liigi ya babinywera bwongedde okusajjuka.
Hussein Bukenya
Journalist @ New vision
OBUTAKKANYA wakati wa FUFA ne kiraabu za liigi ya babinywera bwongedde okusajjuka.




Diana Nyago, akulira Busoga United, agambye nti FUFA (ekulemberwa Ying. Moses Magogo) ekola bya kifere nti ensonga nnyingi ezikwata ku kiraabu teyeebuuza ku bakulembeze baazo.

Eggulo, Magogo yatuuzizza olukiiko n'abakungu ba kiraabu ku kitebe kya FUFA e Mengo kyokka Nyago agamba nti abaakiikiridde ttiimu ye ‘bafere' abatamanyiddwa ye n'olukiiko lwe olufuzi.

Olukiiko lwa Magogo lwabadde luteesa ku nkyukakyuka mu liigi ya sizoni ya 2021/2022 esuubirwa okubaamu ttiimu 12 okuva ku 16 eziriwo kati.

Kiraabu musanvu ku 16 eziri mu liigi ya babinywera ze zeetabye mu lukiiko luno kyokka nga Amin Bbosa ne Agatha Kayemba, abaakiikiridde Busoga United, Nyago yabeegaanyi n'atiisa n'okubatwala mu mbuga z'amateeka abagguleko omusango gw'okweyita kye batali.