EKISAAWE ky’e Namboole (Mandela National Stadium) kyolekedde okujjanjabirwamu abalwadde ba corona singa omuwendo gw’abakwatibwa obulwadde buno gwongera okulinnya.
Musasi wa Bukedde
Journalist @ New vision
EKISAAWE ky’e Namboole (Mandela National Stadium) kyolekedde okujjanjabirwamu abalwadde ba corona singa omuwendo gw’abakwatibwa obulwadde buno gwongera okulinnya.





Pulezidenti Museveni ye yatuukirizza bino ku mukolo gw'okukuza olunaku lw'Abazira ogwabadde mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokusatu.

"Ekisaawe kye Namboole kati kiddaabirizibwa era kyakukozesebwa okujjanjaba abalwadde ba corona naddala ng'omuwendo gweyongedde," Pulezidenti bwe yategeezezza.

Uganda kati erina abalwadde ba corona abasoba mu 600. Dominic Otucet, akulira ekibiina ekiddukanya emisinde mu ggwanga (Uganda Athletics Association, UAF) yagambye nti, " Twasanyukira eky'okuddaabiriza Namboole atuukane n'omutindo naye ate ne twennyamira nga tuwulidde nti agenda kuteekebwamu enkambi y'aba corona kuba twali tuteesa okussaamu empaka za mirundi esatu nga tetunnaggalawo kalenda yaffe."

Emizannyo gyonna mu ggwanga byayimirizibwa ng'omu ku kaweefube w'okulwanyisa ssennyiga omukambwe aleetebwa akawuka ka coronavirus.