KIRAABU ttaano eza Premier ziri mu lutalo lwa kukansa kapiteeni wa PSG, Thiago Silva. Omuzibizi ono ku nkomerero ya sizoni eno, agenda kuba wa busa kuba endagaano ye eggwaako sizoni eno.
Frank Lukwago
Journalist @ New vision
KIRAABU ttaano eza Premier ziri mu lutalo lwa kukansa kapiteeni wa PSG, Thiago Silva. Omuzibizi ono ku nkomerero ya sizoni eno, agenda kuba wa busa kuba endagaano ye eggwaako sizoni eno.





Arsenal y'esinga okuba ku mwanjo nga yakozesezza omukwano gwe ne Mubrazil munne, David Luiz okumutengula.

Wabula Everton, Wolves, Newcastle ne West Ham nazo zimulwanira. Silva 35, ne Luiz, baazannyako bombi mu PSG ne ttiimu y'eggwanga eya Brazil. Omutendesi wa Arsenal Mikel Arteta asuubira nti Silva bw'ajja waakugumya nnyo ekisenge.

"Tugenda kulwana nnyo nga bwe tukozesa ne mukwano gwe Luiz okuleeta Silva," Arteta bwe yagambye.

Ku Mmande, PSG yategeezezza nti ekyasuubira Silva okukola endagaano empya kyokka n'agyesammula nti ayagala kufuna kusoomoozebwa kupya mu liigi endala mu Bulaaya.

Everton nayo erina essuubi ddene okukansa kuba, omutendesi waayo kati, Carlo Ancelotti ye yamutwala mu PSG.

Mu PSG, Silva awangudde ebikopo bya liigi (7), French Cup (4), League Cup (5) n'ebya Trophee des Thiago Silva Champions (5).