MAJ. Gen. Kasirye ggwanga yalese ekiraamo mwe yatadde engeri gy’ayagala ebyobugagga bwe bigabanyizibwe, engeri gy’alina okuziikibwa n’okulabirira abaana be naddala abato.
Joseph Mutebi
Journalist @ New vision
MAJ. Gen. Kasirye ggwanga yalese ekiraamo mwe yatadde engeri gy’ayagala ebyobugagga bwe bigabanyizibwe, engeri gy’alina okuziikibwa n’okulabirira abaana be naddala abato.



Era alina abantu b'abadde yeesiga ennyo be yalese abuulidde ebiri mu kiraamo okukakasa nga tebikyusibwa. Ku bano kwe kuli John Kikaawa maneja wa ffaamu ya Kasirye Ggwanga e Mukono gye yatuuma Camp David. Kikaawa amaze emyaka 30 ng'akolera Kasirye Ggwanga.

Camp David esangibwa ku kyalo Bbanda -Kyandaaza mu Ggombolola y'e Nakisunga. Eriko obugazi bwa yiika 200, eriko abakozi 30.

Kikaawa yategeezezza Bukedde nti mukama we aludde nga yeetegekera okufa era w'afiiridde nga kumpi buli kintu amaze okukittaanya.

"Yantegeeza nga bw'alina ekiraamo era n'ampitiramu ebikulu ebikirimu nsobole okuwabula bwe walibaawo abaffamire bye baagala okukyusa", bwe yagambye.

EBIKULU MU KIRAAMO

Kikaawa agamba nti mukama we yamukalaatira: Ettaka lyange e Busujju tewaba alikwatako. Lya baana bange babiri abato era ekyapa kyalyo nnyabwe akirina.

Agattako nti Kasirye Ggwanga yamutegeeza bw'ayagala ennyo embwa ye gye yatuuma ‘Animal' . Yamutegeeza nti embwa yagisiibula dda kyokka yali tannasalawo ani gw'agenda kugirekera.

Gy'abadde asinga okwagala. Yamugamba tamanyi gw'agenda kugirekera era kino afudde tanakisalawo

"Yang'amba nti bw'aliba afudde alina kuziikibwa Nkene-Busujju mu Mityana era yantuuza mu mmotoka n'anvuga n'antwala n'andaga we bagenda okumuziika. Ekifo kye yandaga kiri kumpi n'omuyembe," bwe yategeezezza.

Kasirye Ggwanga yafudde ku Lwokubiri nga busasaana mu ddwaaliro lya Nakasero Hospital. Ajja kuziikibwa nkya ku Lwokutaano e Nkene-Busujju.

Kikaawa yagambye nti Ggwanga yasemba okubeera e Mukono mu nnaku ntono ezaddirira okulwala mu April 2020. Ekimu ku birowoozesa Kikaawa nti Ggwanga yali asiibula kwe kusalawo ensolo ze zonna okuli ente ne'mbizzi ezaali ku ffaamu okuzisengula n'azitwala e Mityana.

"Yatikka ebisolo ku loole ng'ayogera asaagirira nti kantwale ebisolo byange mwe Bannakyaggwe mbatya muyinza okubirya nga sinnaba na kuziikibwa nga nfudde," bwe yannyonnyodde.

Ku ngabanya y'ettaka lya Camp David, Kikaawa yagambye nti yiika 10 yazigabira abasawo bataano abaamujjanjaba mu 2016 lwe yazuulwa nga mulwadde amawuggwe.

Ekitundu yakigabira magye ate ekitundu ekirala n'akiwa omu ku bakyala be, ekirala n'akigabanya abaana be. Ettaka lyonna yiika 200 yaligabanya ne liggwaawo.

Amannya ga buli yagabana n'obugazi bwe yafuna biri mu kiraamo. Era Kasirye Ggwanga yategeeza Kikaawa ebimu ku bimuluma okuli abaana be okwetemamu.

Kasirye yali atandise ku kaweefube w'okutabaganya abaana. Kikaawa agamba nti yamusaba amuyambeko okugenda mu maaso n'okutabaganya abaana bakwatagane.

Aisha Nantongo omu ku bakozi ku ffaamu eno baagambye nti bamaze ku ffaamu emyaka 20.

"Kasirye yava ku kubeera mukama waffe n'afuuka buli kintu gye tuli. Abadde asasulira abaana baffe fiizi. Bwe tulwala y'asasula ebisale by'eddwaaliro. Okulya ku kanyama n'ebintu ebirungi byonna abadde abituwa," Namuli bwe yategeezezza.

Amawulire g'okufa kwa mukama waabwe, baagambye nti gaabasanze mu nnimiro era bonna amaanyi ne gabaggwa. Kyabatwalidde ekiseera okusonda amaanyi okuva mu nnimiro okudda awaka.

Abakoze baatemye emiranga era baamaze olunaku lwonna nga bawanjaga nti tebamanyi kiddako. "Ggwanga otulekedde ani? Tunaalya wa?Ani anaasasula fiizi z'abaaana," bakira bwe bawanjaga.

Juma Muteewunya yayogedde ku Ggwanga nti abadde mukambwe nnyo eri omukozi akoze by'atayagala ate bw'okola by'ayagala mubeera ba mukwano nnyo n'akuwaana ng'akuwa ng'ekyokulabirako eri abakozi abalala.

"Abadde wa buvunaanyizibwa nnyo kubanga ffenna y'abadde atulabirira ng'abakozi, omusaala abadde agutuwa mu budde, ekibadde kisingira ddala okumuggya mu mbeera kwe kukwata ku miti gye okugitemako wadde ettabi. Oba okusanga mu ffaamu atali mukozi we," Muteewunya bwe yagambye.

Ssentebe w'ekyalo, Margaret Nakayima yagambye nti, Ggwanga abadde mukambwe nnyo wabula ate abadde ayagala abantu naddala abakozi ate abadde yakyawa ababbi. Bwe wabaawo aba LC gwe beekengera nga bamuloopa ewa Ggwanga ng'asitukiramu n'akola ku babbi okutereeza ekyalo.