DDALA ekiteezaala tekyala. Bw’otunuulira embeera za Maj. Gen Kasirye Ggwanga ne kitaawe omugenzi Ssaalongo Yovan Kasirye teweewuunya nti embazuulu gy’abadde nayo kakerenda kaava ku lubaya
Kizito Musoke
Journalist @ New vision
DDALA ekiteezaala tekyala. Bw’otunuulira embeera za Maj. Gen Kasirye Ggwanga ne kitaawe omugenzi Ssaalongo Yovan Kasirye teweewuunya nti embazuulu gy’abadde nayo kakerenda kaava ku lubaya





Ssi ssi bukambwe bwokka wabula ne nneeyisa zonna omuli : okuwakula entalo, okulunda embwa, obutasaaga, okwagala obutonde, ebyobulimi n'obulunzi n'okuwoomera omwenge Kasirye Ggwanga ne Kitaawe nga tobibaaggyako.

Yovan Kasirye yafa mu 1993 ng'atemera mu myaka nga 90 Christopher Kuteesa Nsubuga 62, azaalibwa ku kyalo Katakala e Mityana we bazaala Kasirye Ggwanga yagambye nti yalabako ku taata wa Kasirye ng'akyali mulamu era bino byamwogwerako: Yovan Kasirye yali muwanvu nga muwagguufu.

Yayambalanga ekkanzu enjeru olubeerera ne bwe yalinga agenda mu nnimiro. Ekigere kye kyali kyabyabyatala nga kinene nnyo era teyamulabako ng'akyambazza engatto.

Ku kyalo yali amanyiddwa ng'omusajja omukambwe ennyo atasaaga, omulunzi, omulimi, omuyizzi era nga mukinjaaji. Ssaalong Kasirye yafa mu 1993 nga yaleka abaana mwenda kyokka ng'abasinga bafudde era mu kiseera kino basigaddewo basatu.

Wadde Ssaalongo yali mukambwe ebitagambika, Nnaalongo yali wa kisa ate nga mukakkamu. Awaka tewaggwangawo mbwa. Zino olumu yaziteeranga abantu abaakyamanga ku miyembe gye ne zibafubutula. Kuno yagattangako olumu n'okubawerekeza amafumu nga bw'agamba nti; ‘ku nsi tewali bya bwereere'.

Okumanya Ssaalongo yali mukambwe teyabukomyanga ku bantu bokka, wabula n'ebisolo bye ng'embizzi yazisalanga emimwa n'enkoko okuzitemako obwala ng'abiranga okufukuula olusuku lwe.

Obukambwe teyabukolanga ku bantu ba ku kyalo bokka, yabukolanga ne ku baana be era omwana eyamusumbuwanga n'agezaako okudduka ng'amusimbako.

Kyokka muwala we omu eyayitibwanga Nassiwa (mugenzi) gwe yagobako n'amulema okukwata era baali baamukazaako lya ‘Lupalanga'. Olumu embwa ye bwe yabba amagi, mu ngeri y'okugibonereza yakwata eryanda nga lyokya n'aligiteeka mu kamwa n'agikwata okumala eddakiika nnamba.

Okuva olwo embwa teyaddamu kubba. Ku baana b'oku ku kyalo abaazaanyiranga mu kkubo ng'abawewenyula embooko ate ng'ekyalo kyonna kimutya tewali asobola kumunenya.

KASIRYE GGWANGA YALI TAKWATAGANA NA KITAAWE

Mukambwe Lukonge eyasomera e Katakala Primary School yagambye nti wadde yali muto, alina bye yeetegereza. Kyasinga okujjukira Ssaalongo Kasirye, kwe kuba nti yali takwatagana na mutabani we omugenzi, Maj. Gen Kasirye Ggwanga.

Ssaalongo mutabani we yamuyitanga linnya lya Wasswa era lumu yamugoba n'amulagira obutaddamu kulinnya kigere mu maka ge.

Yatuuka n'okusima ebinnya mu kkubo erikyama ewuwe ng'agenderera emmotoka ya mutabani we ereme kuddamu kuyitawo.

Wadde awaka waalingawo emiyembe mingi, abaana batyanga okukyamawo balonde ku miyembe. Abebbiriranga, yabateeranga mbwa ezaabagobanga n'okubaluma.

Ku kyalo teyalinaako mukwano nga buli muntu amutya olw'obukambwe bwe. Yali muyonjo nnyo atayagala bintu bikyafu era ng'awoomerwa nnyo omwenge.

Nzijjukira awaka wa Ssaalongo waaliwo akakomera akaliko emiti egiriko amasanda, kyokka nga takkiriza baana kukakoonako.

Lumu Ggwanga yajja n'amagye awaka, kitaawe n'amukwatira ejjambira n'amugamba tayingira mu nnyumba ye kuba yasalawo kufuuka w'amagye ate ng'abaamagye basula mu nsiko.