TOP

Bakutte ababadde bateega abatuuze mu kafiyu

Added 12th June 2020

OMUVUBUKA agambibwa okuba mu kibinja ekiteega abantu mu bitundu by'e Kawempe mu kiseera kya kafiyu bamukubye n'alonkoma banne poliisi n’ebakwata ne boogera obukodyo bwe bakozesa okubba.

Kagiri nga bamuwalawala okumutuusa ku poliisi.

Kagiri nga bamuwalawala okumutuusa ku poliisi.

Bya Moses Lemisa

OMUVUBUKA agambibwa okuba mu kibinja ekiteega  abantu mu bitundu by'e Kawempe mu kiseera kya kafiyu bamukubye n'alonkoma banne poliisi n'ebakwata ne boogera obukodyo bwe bakozesa okubba.

Justus Bakansiimwe 23, ow'e Kyebando mu Kisalosalo zooni ng'asindiika kigaali mu katale ka Modern  emagombe yasimbyeyo kitooke oluvannyuma lw'abasuubuzi ku Kaleerwe okumukuba nga bamulanga okuba mu kibinja ky'abavubuka ekiteega abantu mu bitundu ebyenjawulo mu Kawempe ne kibanyagulula.

Bakansiimwe emiggo bwe gyamuyitiriddeeko n'alonkoma banne okuli Rahman, Isma Kagiri, Wasswa, Ian, Fahad Ssuuna n'abalala

Abaalonkomeddwa  poliisi yakutteko Isma Kagiri 22, omwetiisi w'emigugu mu katale ka Freedom ng'asula Kazo eyasoose okwegaana, bwe baamulaze akatambi nga bakuba omukazi  gwe baabbyeko essimu n'asaba ekisonyiwo. Ssuuna naye yakwatiddwa.

Yagasseeko nti bakozesa obukodyo omuli ak'okwefuula abazannya omupiira  n'ekigenderwea ky'okubba.  

Manjeri Namukabya 27, ow'omu Kaleerwe zooni yagambye nti yabadde ava Kyebando kugula mata n'asanga  abavubuka nga bazannya omupiira mu kibangirizi ky'oluguudo olukolebwawe baamutayiizza ne bamukuba eccupa ku mutwe ne bamubbako essimu ekika kya Techno W4 ebalirirwamu emitwalo 50. Yaguddewo omusango ku fayiro nnamba SD REF:21/10/06/2020.

BYA MOSES LEMISA

OMUVUBUKA agambibwa okuba mu kibinja ekiteega  abantu mu bitunsu bye kawempe mu kiseera kya Kafuyi bamukubye nalonkoma banne poliisi n'ebakwata ne boogera obukoddyo bwe bakozesa okubba.

Justus Bakansiimwe 23 owe Kyebando mu Kisalo ng'asindiika kigaali mu katale ka Modern  emagobe yasimbyeyo ekitooke oluvannyuma lw'abasuubuzi ku kaleerwe okukuba nga bamulanga okuba mu kibinja ky'abavubuka ekiteega abantu mu bitundu ebyenjawulo mu kawempe ne kibanyagulula , Bakansiimwe emigo bwe gyamuyitiriddeko nalonkoma banne  okuli Ruhman , Isma , Wasswa , Ian , Fahad n'abalala

Abaalonkomeddwa  poliisi yakutteko Isma Kagiri 22 mwetiisi wa migugu mu katale ka Freedom ng'asula Kazo  yasoose kwegaana bwe baamulaze akatambi alaga nga bakuba omukazi  gwe baabbyeko essimu n'asaba ekisonyiwo , yagasseko nti bakozesa obukoddyo omuli akokwefuula abazannya omupiira  n'ekigenderwea ky'okubba  abalala abaakwatiddwa kuliko  Fahad Suuna.

Manjeri Namukabya 27 ow'omu Kaleerwe zooni yagambye nti yabadde ava Kyebando kugula matta nasanga  abavubuka nga bazannya omupiira mu kibangirizi ky'oluguudo olukolebwa baamutayiizza ne bamukuba ecupa ku mutwe ne bamubbako essimu ekika kya Techno W4 ebalirirwamu emitwalo 50 oluvannyuma baakutte omupiira gwaabwe ne badduka , yaguddewo omusango ku Fayiro nnamba SD REF:21/10/06/2020

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku bamulekwa nga bateeka ekimuli ku ssanduuko y’omugenzi Batte (mu kato). Tunuza kkamera y’essimu yo ku kalambe akali ku kifaananyi olabe vidiyo.

Poliisi ezudde bokisi omuli...

EBIPYA bizuuse ku ttemu eryakoleddwa ku ddereeva wa sipensulo, Christopher Batte ow’e Seeta eyattiddwa abaamupangisizza....

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...