ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Mugongo A, mu Kyengera Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso omwana bw’afiiridde mu muzigo.
Ponsiano Nsimbi
Journalist @ New vision
ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Mugongo A, mu Kyengera Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso omwana bw’afiiridde mu muzigo.






Irene Nassali 11, ng'abadde asoma P4 mu Grand Gate Primary School e Kyengera ye yasangiddwa mu muzigo gwa Catherine Nakimbugwe ne Richard Kawooya omuzimbi nga mufu ate Nakimbugwe ng'ataawa.

Rose Namuli, ssenga wa Nassali nga ye landiroodi wa Nakimbugwe wakati mu maziga yateegezezza nti Nakimbugwe abadde yaakajja wabula ku Lwokutaano yasiibye alumizibwa era ku ssaawa 2:00 ez'ekiro yamukonkonye n'amutegeeza nti yabadde teyeewulira bulungi ng'asaba Nassali amusuzeeko.

Wabula agamba nti ono ennaku z'amazeewo abadde alogootana ekiro era ng'obudde bukya baawuliridde omuntu ayiriitira nga bwe baagenze okuyitaayita tebaawuliddeyo kanyego kwe kumenya oluggi ne basanga nga bombi bagudde wansi nga Nassali mufu.

Aboobuyinza nga bakulembeddwa ssentebe w'ekyalo, Joseph Kityo baatuuse ne bafulumya Nakimbugwe nga wano omu ku batuuze we yatandikidde okumuwa amata agaamuyambye okudda engulu.

Poliisi okuva e Kyengera ng'ekulebeddwa Patrick Kidega yatuuse n'eteeka Nakimbugwe ku kabangali yaayo n'omulambo gwa Nassali ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

Wabula abatuuze abamu baategeezezza nti Kawooya oluvannyuma lw'okutegeera nti Nakimbugwe alina obuzibu yasalawo okumuddukako n'amuleka mu nnyumba ate abalala ne bagamba nti obuzibu bwavudde ku ssigiri eyabadde mu nnyumba nga yandiba nga yabaviiriddeko okuziyira.

Ssentebe w'ekitundu, Kityo yagambye nti Nakimbugwe abadde tamumanyi mu kitundu n'akyomera balandiroodi abatayagala kubanjulira bapangisa baabwe ne babanoonya nga bafunye obuzibu.