OMUWENDO gw’abaana abasuulibwa gweyongedde mu biseera bino ebya ssennyiga omukambwe.
Musasi wa Bukedde
Journalist @ New vision
OMUWENDO gw’abaana abasuulibwa gweyongedde mu biseera bino ebya ssennyiga omukambwe.

Bya JALIAT NAMUWAYA







Abakulira amaka agalabirira abaana abalondebwa aba Sanyu Babies' Home baategeezezza nti buli lunaku bafuna amasimu agatakka wansi wa 10  agabakubirwa okuva ku poliisi, amalwaliro  ne mu bantu ssekinnoomu nga babategeeza ku baana abasuuliddwa abeetaaga okuyambibwa.

Akulira amaka ga Sanyu Babies Home Barbara Nankya Mutagubya agamba nti kyokka ku baana bano bonna bo basobodde kuyingizaako baana 10 bokka mu maka gano olw'embeera y'endabirira. Agamba nti ne ssennyiga bwe yali taliiwo era abantu nga basuula abaana naye ku mulundi guno balaba ng'omuwendo gweyongeddeko .

‘'Tufuna amasimu okuva ku malwaliro omukyala ng'olwamaze okuzaala yafulumye bufulumi ne yeetambulira omwana n'aleka awo''

Agattako nti n'abaana abalala be bafunye mu kiseera babeera  bannyuluddwa mu kabuyonjo nga gwe bakyasembyeyo okufuna mwana muwere envunyu gwe zaalidde eriiso.

*Obutabanguko mu maka nabwo buvuddeko abaana abasuulibwa okweyongera mu biseera bino.

Barbara akulira Nankya Sanyu babies home ng'akutte bbebi

OKUSOOMOOZEBWA KWE BOOLEKEDDE  

Amaka ga Sanyu Babies' Home gasobola okulabirira abaana 50 bokka ,naye olwokuba omuwendo gw'abaana mwasirizi bangi  gaawalirizibwa okwongera ku baana nga kati bali 57.

Mutagubya agamba nti amaka gano gayimiriddewo ku buyambi obubaweebwa abazirakisa naddala Abazungu naye okuva mu December w'omwaka oguwedde obuyambi bwasalikira ddala olwa ssennyiga omukambwe.

‘'Abaali tebannasazaamu ng'endo zibaleeta kuno okutudduukirira  twawalirizibwa okubawandikira amabaluwa ffe ffennyini ne tubayimiriza nga naffe tufunye okutya nti bandijja mu baana n'obulwadde oba bo okubufuna nga batambula. Yadde obuyambi bwasalika abaana bo basigala bakyeetaga okulya n'obujjanjabi''

Basabye Bannayuganda okwongera okubadduukirira. ‘'Banange bano abaana baffe ,bava mu ffamire zaffe ate era bava mu bitundu mwe tubeera nsaba tuveeyo tubayambe''

Omuntu yenna abayagala okuduukirira abaana bano osobola okutwala obuyambi ku ofiisi za Sanyu Babies' Home ezisangibwa e Namirembe mu Kampala. Oyinza n'okuweereza obuyambi ng'oyita  ku nnamba z'essimu ez'omukulu w'amaka gano .  [0705681603/ 0788162147 ] .

Amaka ga Sanyu Babies Home

ABAAGALA ABAANA 

Mutagubya yategeezeza nti bateekedwa okulabirira abaana okuviira ddala ku muwere ow'olunaku 1 okutuusiza ddala ku mwana ow'emyaka 3 ,omwana yenna kasita asussa emyaka gino abeera ateekeddwa okufunirwa amaka amalala wano w'asinzidde okusaba ffamire eziyinza okuba nga zirina obusobozi n'ebigendererwa ebitali bikyamu okugenda baweebwe abaana babakuze nga baana baabwe.  

‘'Tetutunda baana ,abaana ba bwereere ,ffe kasita tumala okwekenneenya nti tolina kigendererwa kibi, tolina kikolobero kyonna kye wali okoze ,okusingira ddala oteekedwa okuba n'obusobozi obw'okulabirira omwana ono obulungi ‘'

 Agamba nti mu kiseera kino balina abaana bangi abaatuuka edda naye nga tebannafuna babatwala ,akubiriza abaagala abaana baleme kutwala nga bawala bokka wabula batwale ne  kubaana abalenzi wamu n'abo ababeera baazaalibwa n'obulwadde kuba nabo beetaaga okubudaabudibwa.