ABATUUZE ba Sankala zooni Lukuli -Makindye bali mu kweralikirira oluvanyuma lw’ekitongole kya NEMA okubakubakoekiwandiiko nga kibalagira okuva mu kitundu kino nga kigamba besenza mu ntobazi.
Benjamin Ssemwanga
Journalist @ New vision
ABATUUZE ba Sankala zooni Lukuli -Makindye bali mu kweralikirira oluvanyuma lw’ekitongole kya NEMA okubakubakoekiwandiiko nga kibalagira okuva mu kitundu kino nga kigamba besenza mu ntobazi.
Bya BENJAMIN SSEMWANGA 
ABATUUZE ba Sankala zooni Lukuli -Makindye bali mu kweralikirira oluvanyuma lw'ekitongole kya NEMA okubakubako
ekiwandiiko nga kibalagira okuva mu kitundu kino nga kigamba besenza mu ntobazi.
Abatuuze abakulembeddwaamu abakulembeze baabwe ku LC bategezezza nti tebayinza kukkiriza ezo ennaku 21 ze babagambiramu basenguke nabuli kimu ng'abasinga baluddemu bazaliddemu abaana n'abazukulu  tebalina
gye bayinza kugenda mu kiseera kino.
Kassim Ssekimpi, ssentebe LC1 Sankala zooni yasabye okuyambibwako abakulembeze bekikwatako kubanga mu kiseera kino abantu be bakulembeera bali mu kutya okusengulwa ng'ate n'embeera ya ssente ssi
nnungi  mu kiseera kino ekya coronavirus.