POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwata abakazi ababadde basiba n’okukola enviiri, ku kizimbe kya Gazaland ne Equatorial Mall.
Frank Lukwago
Journalist @ New vision
POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwata abakazi ababadde basiba n’okukola enviiri, ku kizimbe kya Gazaland ne Equatorial Mall.

 






Akulira ebikwekweto ku poliisi y'oku CPS mu Kampala, ASP Ivan Nduhura, ye yakulembeddemu ekikwekweto kino ng'ali wamu n'amagye.

 

Poliisi egamba nti abakozi mu saluuni ez'enjawulo baalagirWa Pulezidenti ne minisitule y'ebyobulamu okugira nga balindako okuggulawo saluuni zaabwe, ng'omu ku kaweefube w'okulwanyisa ekirwadde kya ssennyiga omukambwe (Corona).

Abamu ku bakazi abaakwatiddwa kwabaddeko abasiba enviiri ne be baabadde basiba.

Bano mu kwewozaako baategeezezza nti, embeera y'obwavu ye yabawalirizza okuggulawo okusiba enviiri okusobola okufunira ffamire zaabwe ekyokulya.

Poliisi yategeezezza nti saluuni ezisinga ziri ku akeedi, ezimu ku ezo ezitannaba kukkirizibwa kukola.

Bino we bijjidde nga baminisita okuli owa Kampala, Betty Amongi, n'Owebyobusuubuzi, Anne Amelia Kyambadde baakalambula akeedi okulaba oba kisaanidde okuziggulawo oba okusigala nga ziggaddwa okutuusa ng'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe kikkakkanye.