TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensi ekalubye omukazi ow'emyaka 75 akuba bbulooka

Ensi ekalubye omukazi ow'emyaka 75 akuba bbulooka

Added 2nd July 2020

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Atalina mukaamwana yeekaamwana yekka ne  mukazimukulu Christine Nansubuga Lwemwa ow'emyaka 75,  akuba bbulooka okuyimirizzaawo obulamu bwe ne bazzukulu be
Nansubuga mutuuze we Masooli mu Kasangati Town Council mu disitulikiti y'e Wakiso. Bba yafa mu 2005.
Nansubugan ng'akuba bbulooka
"Mu 2000 nga baze tannafa natandika okukuba bbulooka gwe nafuula omulimu n'okutuusa leero. Abantu abasinga mu kiseera ekyo bansaasiranga kyokka nga nze ndi mumalirivu era sejjusa kuba mulimuogukuumye obulamu bwange bulungi", bw'annyonnyola.  
Wadde ng'abaana be bakuze era nga basobola okumuwa obuyambi obw'enjawulo, Nansubuga akyakuba bbulooka era ng'olunaku okuba 3000. Agamba nti kino akikola kuba yamanyiira okubeera ku mulimu nga nakyo kimuyambye okwekuuma nga mugumu.
Nansubuga afubye okunyikizza akatiba
"Okukuba bbulooka kulinga kukola dduyiro ekinnyambye okukuuma omubiri  nga mulamu era lwe mba sizikubye nnafuwa ne mpulira nga ndimugonvu nnyo.
KKALANTIINI TEMUYISIZZA BUBI
Pulezidenti w'eggwanga bwe yali ayimirizza emirimu egy'enjawulo mu kaweefube w'okulwanyisa essennyiga omukambwe, ogw'okuzimba yagulekawo kino ne kiyamba nansubuga okusigala ng'akola ssente.
Enyumba ya Nansubuga
Enyumba ya Nansubuga
Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.
"Abakyala bangi kasita bafiirwako abaami baabwe batandika okwekubagiza n'okweyita bannamwandu wabula nga ssinga omuntu amalirira asobola okweyimirizaawo, Nansubuga bw'agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....