TOP

Disitulikiti Kaadi w'e Mukono akawatiddwa

Added 9th July 2020

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Bya ERIC YIGA
POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa ekifuba okuyigira mu ofiisi za Immam ezisangibwa ku muzikiti omukulu e Mukono ogumannyiddwa nga Masjid Taqua.
Lumala ku poliisi yategeezezza nti Imaam Abdul Majidu Ssenyonjo yateekebwa mu  ofiisi eno mu bukyamu  , era nga Ssenyonjo abadde asibye ofiisi eno okumala ekiseera nabo ekibawalirizza okugimenya okusobozesa ba Imaam abalala okugikozesa.
Wabula Imaam Ssenyonjo ayogerwako yagambye nti ye yateekebwa mu ofiisi eno mu mateeka wabula Lumala bwe yakuzibwa ate yagaana okuva mu ofiisi ekireesewo okusika omugwa.
Ye ssentebe w'olukiiko olutwala omuzikiti gunno, Muhammad Ffeefeeka Sserubogo yagambye nti obuzibu  bwonna  buvudde ku bakulu ba Uganda Supreme Council  abalemeddwa okutuuza Lumala mu ofiisi ye nga district ye Khadi esangibwa e Kiyunga. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...