TOP

Bana basimbiddwa mu kkooti lwa ssente za Corona

Added 9th July 2020

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa abakenuzi.

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa abakenuzi.

Omulamuzi wa kkooti ento mu kkooti ya Buganda Road, Doreen Kalungi Olga  aliko abakungu bana abaali bakola mu ofiisi ya ssaabamnisita baasindise mu kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo bawerennembe n'emisango 24 egibaguddwaako omuwaabi wa gavumenti.

Banno okuliko omuwandiisi ow'enkalakkalira, Christine Guwatudde Kintu, kamisona Joel Wanjala,  Fred Lutimba Kyeyune  ne kamisona Martin Owor nga mu misango egibaguddwaako mulimu egyenguzi, okwekobana ne baagala okufulumya ensimbi mu bukyamu, okulagajjalira emirimu gyabwe ekyavako okufiirizibwa ensimbi za gavumenti n'emirala,

nga bano emisango gino baagizza mu April w'omwaka guno era nga banno babadde bakiikiriddwa ba pulida baabwe omuli kanso Buwembo, Mackdusmas Kabega, Omubaka Medard Sseggona n'abarala.

Omulamuzi Karungi yategeezezza ng'omusango guno kkooti ye tesobola kuguwozesa nga gulina kugenda mu kkooti ewozesa abakenuzi era bwatyo nabasindika eyo.

Bano gye buvuddeko baayimbulwa ku kakalu ka kkooti  oluvannyuma lw'okuggulwako emisango omuli egy'okudumuula emiwendo gy'ebintu omuli akawunga ne bijanjalo bye baalina okugabira abantu mu kalantiini.

Omusango gwa kuddamu okuwulirwa nga 23/7/2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Mwebesa

Omuntu owa 5 afudde Corona

UGANDA efiiriddwa omuntu owookutaano, ekyongedde okweraliikiriza nti obulwadde bwa Corona bukyali bwa maanyi mu...

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...