TOP

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

Added 9th July 2020

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola.

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

BYA MOSES LEMISA

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n'alwanagana n'abaserikale ng'agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola.

Godfrey Mwanje  30 ow'e Mpererwe nga makanika ye  yezoobye n'abaserikale abakwasisa amateeka g'okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 , Mwanje alina munne gweyabadde naye nga bava okuziika e Busiika nga baweese abasaabaze ekimenya amateeka.

Bwe batuuse ku yunivasite y'e Bugenda awabaadde emisanvu gya poliisi yayiseewo ng'adduka misinde munne eyabadde asigadde emabega n'akwatibwa ekyawalirizza Mwanje okuyimirira amutaase. Yabeyanjulidde nga naye bwali omueirikale.

Mwanje yagambye yabadde alina gyava okuziika nga bamuweese ku piki piki abaserikale we baamukwatidde ne batandiika okumukuba nga kati bamuwayirizza nti ye yabaakubye.

"Amazima siri musirikale munsonyiwe ne ku piki piki mbadde sirina gwe mpeese ate kirabika mulabye bubi nze gwe babadde baweese bye mugamba nti mbakubye mulimba sisoboola kulwanyisa bantu babiri" Mwanje bwe yategeezezza.

Omuserikale wa tulafiki eyategerekeseko erya Toga yagambye nti Mwanje bwe baamusabye ebimumwogerako okukakasa nti muserikale we yatandikidde okubalwanyisa okukkakana ng'omuserikale eyabadde mu ngoye eza bulijjo amuyulizza esaati

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....