EBY'OMUGENZI Alhaji Nasser Ntege Ssebaggala tebiggwa malojja! Buli gw'otuukako amulojja bubwe olw'omukululo gw'alese mu byobufuzi n'obusuubuzi bwa Uganda.
Vivien Nakitende
Journalist @ New vision
EBY'OMUGENZI Alhaji Nasser Ntege Ssebaggala tebiggwa malojja! Buli gw'otuukako amulojja bubwe olw'omukululo gw'alese mu byobufuzi n'obusuubuzi bwa Uganda.
Dr Paul Kawanga Ssemogerere
Dr Paul Kawanga Ssemogerere

Omu ku balojja Sebaggala ye Dr. Paul Kawanga Semogerere, eyaliko ssenkaggale w'ekibiina kya DP, omugenzi Sebaggala mwe yaliko nga tannakyuka kugenda mu NRM n'oluvannyuma mu NUP gy'abadde yakeegattako.

Semogerere agamba nti Ssebaggala baamulabirawo ng'akyali muvubuka nti alimu ekyama ky'obukulembeze obulungi n'okukunga abantu ne bamusembeza.

Agamba nti mu 1969, DP yawerebwa n'ebibiina by'obufuzi ebirala byonna ne bivaawo olw'entalo z'ebyobufuzi ezaaliwo ne wasigalawo ekibiina kimu ekya UPC ekyali ekya Milton Obote eyali Pulezidenti ebiseera ebyo, abamu ne bawaη− ηanguka abamu ne batusiba okuli nze, omugenzi Ben Kiwanuka n'abalala.

Embeera bwe yagenda etereera Obote nga bamuggyeeko, twayagala okuddamu okuzuukusa ekibiina kya DP mu 1970 nga giggwaako nga tunoonya abavubuka envuumuulo n'abantu abagundiivu okuzimba ekibiina.

Ebiseera ebyo si nze nali nkulira DP wabula nga ntunuuliddwa mu bukulembeze bw'ekibiina kino, we baatusibira mu 1969 nze nali owaamawulire w'ekibiina kya DP. Bannange bangi baali bafudde, nga Ben Kiwanuka attiddwa n'abalala kale ne bantunuulira nga nnyinza okununula DP.

Twatandika okumagamaga okulaba abantu be tuyinza okusembeza okukola nabo okutumbula DP.

Sebaggala saasooka kumumanya, naye bannange be baamundaga, bwe namwetegereza nga muvubuka muto ate nga mututumufu mu by'obusuubuzi mu Kampala ne mu butale.

Twamusembeza ne yeegatta ku DP, yatulaga obuvumu bungi n'obuwagizi era DP yagitunda nnyo mu bantu olw'obujagujagu bwe n'obuwagizi bwe yalina mu bantu be yakolerangamu. Yayongera amaanyi mu DP n'agireetera okwongera okumanyika, yali amanyi abantu bangi, yabasaggula n'abaleeta mu DP, n'efuna ettutumu.

Ebiseera ebyo waaliwo endowooza nti ekibiina kya DP kya bakatoliki bokka.

Sebaggala yatuyamba okuggyawo endowooza eyo kuba yali Musiraamu ate n'ayatiikirira nnyo mu kibiina.

YALAGA EBYOBUFUZI EBY'EKIGUNJUFU

Mu kulonda kwa 1980, Sebaggala y'omu ku beesowolayo okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti owa East Kampala ku kaadi ya DP.

Twalina abaagala ekifo ekyo babiri; Sebaggala ne Michael Ojok Mulozi, wadde nga kifo kyali kya mu Buganda, twasalawo mu kamyufu tuwe Ojok y'aba avuganya. Twasooka kutya nga tulowooza nti, Sebaggala ajja kunyiiga obutamuwa kaadi ate ng'alina ettutumu mu bantu.

Yatwewuunyisa, bwe yakkiriza awataali kukaayana n'adda ebbali n'alekera Ojok n'atakoma okwo n'amuwagira n'amusaggulira akalulu mu buli nsonda ya Kampala era Ojok n'awangula akalulu ako.

Nasigala ntendereza omwana oyo olw'omutima omukulu era omukkakkamu gwe yayolesa mu byobufuzi, ate nga bw'otunula ensangi zino teguliiwo, buli gwe bamma akamyufu akaayana era tayagala kuwagira gwe bawadde kaadi.

Bwentyo Ssebaggala namulabamu enneeyisa y'ekintu ekikulu mu by'obufuzi, abadde musajja ateegulumiza. Yafuuka mukwano gwange mu by'obufuzi ne mu buntu.

Omukisa gw'okulonda mmeeya w'ekibuga Kampala mu 1998, Sebaggala yalaga obwagazi bw'ekifo era ffenna olw'omutima gwe yatulaga mu 1980 twasalawo okumuwagira ku kifo ekyo, wadde teyalina buyigirize bumala ate nga waaliwo abalala abalina obuyigirize, twasalawo okumuwagira era n'awangula.

Bwe yafuuka Mmeeya yasigala muwulize, ng'akkiriza okuwabulwa. Yajjanga gyendi n'anneebuuzaako ne muwabula era bye muwabudde n'abiteeka mu nkola; okugeza; bwe yali agenda okulonda omumyuka we, namuwabula ne musaba awe omuwala Sarah Nkonge Muwonge obumyuka bwa mmeeya kuba nnali mulabyemu obusobozi ate nga ne kitaawe Nkonge twalina ebyafaayo bingi mu by'obufuzi.

Sebaggala teyantenguwa, yafuula Sarah Nkonge Muwonge omumyuka we, naye n'amusendasenda n'amuleeta mu DP. Waayita akaseera katono n'afuna ebizibu ne bamusiba olw'ebicupuli, olwo Sarah Nkonge n'agira ng'akola mu kifo kya mmeeya, era yakola bulungi.

Wadde afudde waliwo enjawukana mu byobufuzi, naye abadde muntu mulungi, atasiba busungu ku mutima, mukozi, teyeeganya ate nga yeekkiririzaamu.

Yatumalako ebigambo ffenna bwe yatengula omukyala Mosha eyali omukyala ow'amaanyi n'amuwasa, Sebaggala omusajja ataasoma n'atengula omukazi owa kkiraasi eya waggulu etyo, kyatwewuunyisa.

Buli ky'abadde ayagala akikolerera okutuusa ng'akyetuusizzaako.