HAJJI Musa Senyondo eyakazibwako erya Nabugabo agamba nti ssinga teyali Hajji Nasser Ntege Sebaggala kulemerako nti kasasiro teyeetaaga Lungereza okumuyoola, pulojekiti yali etuyise mu myagaanya gy’engalo.
Sarah Zawedde
Journalist @ New vision
HAJJI Musa Senyondo eyakazibwako erya Nabugabo agamba nti ssinga teyali Hajji Nasser Ntege Sebaggala kulemerako nti kasasiro teyeetaaga Lungereza okumuyoola, pulojekiti yali etuyise mu myagaanya gy’engalo.

 

Sebaggala yabakkiriza okuddukkanya pulojekiti y'okuyoola kasasiro ekyakendeeza kkolera mu Kampala.

NSISINKANA SEBAGGALA

Hajji Sennyondo ne David Sebirumbi aba Nabugabo Up Deal baatenderezza Sebaggala.

Sennyondo agamba nti, "Twasisinkana Sebaggala mu 1998 e Nabugabo nga tutunda mipiira gya mmotoka.

Mu biseera ebyo yali anoonya kalulu kamuleeta ku bwammeeya bwa Kampala.

Twamusuubiza okumuwa akalulu kyokka ne tumulangira nti tubawa obululu ne muyitamu kyokka bwe mutuuka mu buyinza mutwerabira n'emirimu ne mugigabira bagwira.

Ffe twamusaba mulimu gwa kuyoola kasasiro mu Kampala n'agutusuubiza.

Olwalya akalulu n'atuyita ne tumuyitiramu n'agamba nti omulimu guno mulungi. Abakulu mu ofi isi be yatukwasa baasooka kututambuza nga mu wiiki batuyita emirundi esatu nga tebalina kye batugamba.

Oluvannyuma baategeeza Sebaggala nti abantu be tebasobola mulimu kubanga bapapirira ekisusse.

Sebaggala yatuteerayo akabega bwe yabagamba nti bano basuubuzi babala ssente tebafaanana nga mmwe abasiiba mu ofi isi nga mutudde.

Sebaggala yatukwasa abakungu abalala abaamuwa alipoota nti tetusobola kuyoola kasasiro kubanga tetumanyi Lungereza. Wabula Sebaggala yabigaana n'abategeeza nti kasasiro teyeetaaga kumwogerera Lungereza okumuyoola.

BATUKWASA OMULIMU GW'OKUYOOLA KASASIRO

Twali twakatandika omulimu Sebaggala ne bamukwatira mu Amerika.

Wabula yali amaze okutukwasa omumyuka we, Sarah Nkonge. Ssebaana Kizito yayingirawo nga mmeeya bonna ne basiima omulimu gwe tukola. Okuva olwo tuyoola kasasiro