EKIBIINA kya NRM kiwaddeyo emikono egisoba mu bukadde butaano (5) eri akakiiko k'ebyokulonda nga gisemba Yoweri Kaguta Museveni okuddamu okuvuganya ku kifo kya Pulezidenti mu kulonda okw'okubaawo mu 2021.
Gonzaga Bbosa
Journalist @ New vision

Museveni y'omu ku baagala okuvuganya ku ntebe eno asoose okutuukiriza ekisaanyizo eky'okuwaayo emikono egimusemba eri akakiiko k'ebyokulonda nga gyavudde mu disitulikitti 142.

Nga bakulembeddwa omumyuka wa Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong baawaddeyo ebiwandiiko ebiriko emikono gino eri akola ng'omuwandiisi w'akakiiko k'ebyokulonda, Leonard Mulekwa ku Lwokutaano.

Todwong yagambye nti baasobodde okukuhhaanya emikono egisukka kw'eggyo egyalagibwa mu mateeka okusobozesa ssentebe w'ekibiina kyabwe, Yoweri Kaguta Museveni okuddamu okuvuganya awatali kumulemesa.

Mu mateeka agafuga ebyokulonda ayagala okuvuganya ku Bwapulezidenti yeetaaga okufuna emikono mu disitulikiti ezitakka wansi wa 98 kw'ezo 145 eziri mu ggwanga.

Mulekwa yasiimye ekibiina kya NRM olw'okwanguyiza akakiiko omulimu gwako ne bawaayo emikono mu budde.

N'akubiriza ebibiina ebirala okukola ekintu kye kimu nga NRM bw'ekoze.