ABAMERIKA abamu beewanise emitima ku kiyinza okuddirira singa Donald Trump obulwadde bwa ssenyiga omukambwe bumugonza n’aba nga takyasobola kuddukanya mirimu gy’obwa Pulezidenti bwa Amerika.
Gonzaga Bbosa
Journalist @ New vision
ABAMERIKA abamu beewanise emitima ku kiyinza okuddirira singa Donald Trump obulwadde bwa ssenyiga omukambwe bumugonza n’aba nga takyasobola kuddukanya mirimu gy’obwa Pulezidenti bwa Amerika.

ABAMERIKA abamu beewanise emitima ku kiyinza okuddirira singa Donald Trump obulwadde bwa ssenyiga omukambwe bumugonza n'aba nga takyasobola kuddukanya mirimu gy'obwa Pulezidenti bwa Amerika.

Abasinga mu kibiina kya Republicans ekyasimbawo Trump okuvuganya mu kalulu akagenda okukubwa nga November 3, 2020 batidde olw'omuntu waabwe eyalekedde awo okunoonya akalulu ate nga munne, Joe Biden eyeesimbyewo ku kkaadi ya DP ayongera kukaffeffetta.

Ebimu ku bibuuzo Ebisinga okwEbuuzibwa byE bino l Okukubaganya ebirowoozo ‘debate' wakati wa Trump ne Biden kwe babadde bazzaako nga October 15, 2020 ne October 29, 2020 kunaabaayo! Kino tekimanyiddwa oba Trump anaaba awonye era bw'aba awonye anaaba alina amaanyi agoogera.

Amaka g'Obwapulezidenti aga White House gaalangiridde mu butongole nti Trump mulwadde ne gategeeza nti emirimu gyonna omuli ne kampeyini Trump by'abadde alina okwetabamu byayimiriziddwa.

Ku Lwokutaano, yabadde alina okugenda e Florida gy'alina amaka ne bbizinensi awummulemu ku wiikendi aveeyo agende mu ssaza ly'e Wisconsin akuyege abantu. Amasaza gombi masaale mu bululu bwa Amerika ate nga mu 2016, Trump era ye yagawangula wabula ku luno, Biden amuleebya mu kunoonyereza okuzze kukolebwa.

l Singa Trump ssennyiga wa COVID-19 amulemerako oba n'amutta; Kino buli omu yakitidde omuli n'abatamuwagira.

Ekyasinze okubatiisa kwe kubeera nga ssenyiga ono atta mangu abakadde ate nga Trump wa myaka 74.

Mukyalawe, Melania Trump nga naye mulwadde yatadde ku mukutu gwe ogwa Twitter ebigambo ebiraga nti bba tali bulungi ate waakiri ye (Melania).

Kino Abamerika olwakiwulidde ne batandikirawo okulowooza ku ssemateeka waabwe ky'agamba mu ssuula eya 25 eyitibwa 25th Amendment.

Egamba nti," singa Pulezidenti afuna obuzibu bwonna omuli okufa, okulwala n'abeera mu mbeera nga takyategeera n'engeri endala yonna etamusobozesa kubeera mukulembeze wa Amerika, omumyuka we atuula mu ntebe ye.

Kino kitegeeza nti singa ekirwadde kimulemesa, Mike Pence alina okumuddira mu bigere. Olwo kitegeeza nti Pence era y'abeera agenda okwesimbawo ku kkaadi y'ekibiina kya Republican atwale kampeyini mu maaso.

Mu mateeka g'ekibiina ekyo, akakiiko ka Republican National Committee akatetenkanyiza ekibiina ekyo, kasobola okutuula ne kalonda omuntu wabula Pence aba n'emikisa nga 99 ku 100, okuba nga y'agenda okulondebwa.

Ssemateeka waabwe alagira okutuuza olukiiko ‘Convention' olw'abakiise ab'oku ntikko ne bateesa bukubirire ekiddako ng'ekisinga kya kulonda amuddira mu bigere.

PEncE awulira atya Essaawa Eno Yategeezezza bannamawulire mu Amerika nti ye ne mukyala we, Karen bali bulungi era ng'obubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Twitter, Pence yasabye Abamerika bonna basabire Trump. Olwo kiki ekiddako ku kukubaganya ebirowoozo ‘debate' okwokubaawo wakati w'abamyuka b'abeesimbyewo okuli Pence ne Kamala Harris; Eno esuubirwa okubaawo ku Lwokusatu lwa wiiki ejja era okusinziira ku mbeera bombi gye balimu, erabika nga eteekwa okubaawo.

Biden  naye agenda kukeberebwa 

Ku Lwokutaano, Biden yakkirizza naye akeberebwe kubanga yabeerako ne Trump bwe baali mu kukubaganya ebirowoozo ‘debate' eyasooka.

Wadde nga baali tebeeriraanye nnyo, kyetaagisa okukebera Biden okukakasa oba nga naye ali bulungi oba si kyo ajjanjabibwe okwewala okulonda omuntu ate ayinza okufa ssennyiga nga yaakalondebwa.

Biden naye bw'aba akwatiddwa ssenyiga abeera mu mbeera mbi olw'emyaka gy'alina. Alina emyaka 77.

Ekya Trump okukwatibwa COVID-19 kitegeeza ki eri Abamerika b'abadde agamba nti ssenyiga oyo taliiyo; Bangi b'abadde alaga nti taliiyo ng'akuba n'enkiiko nga tayambadde masiki nga nabo tebazambadde, baatidde ne bakakasa nti bituufu gy'ali.